bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zechariah 5
Zechariah 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga.
2
N'aŋŋamba nti, “ Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti, “Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi (10).”
3
N'aŋŋamba nti, “Ekyo kye kikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aliggibwawo era buli alayira eby'obulimba aliggibwawo bamulaze ku luuyi olulala.
4
Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira obwereere erinnya lyange, era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.”
5
Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti, “Kale yimusa amaaso go, olabe ekirala ekijja.”
6
Nemubuuza nti, “Ekyo kiki?” N'anziramu nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
7
Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky'essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng'akituddemu.
8
N'aŋŋamba nti, “Ono bwe Bubi.” N'amusindika n'amuzzamu munda mu kisero, n'aggalawo omumwa gwakyo n'ekisaanikira eky'ekyuma eky'essasi.
9
Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula ekisero mu bbanga ly'ensi n'eggulu.
10
Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”
11
N'anziramu nti, “ Mu nsi ya Sinaali okumuzimbira ennyumba, nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14