bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zechariah 7
Zechariah 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu.
2
Awo abantu be Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe okwegayirira ekisa kya Mukama,
3
n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogw'okutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
4
Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti,
5
“Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti, Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu (70), mwali musiibira nze?
6
Era bwe mulya ne bwe munywa, muba temulya ku lwammwe era temunywa ku lwammwe?
7
Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiikaddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu.”
8
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti,
9
“Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti, Musalenga emisango egy'ensonga, era buli muntu akwatirenga muganda we ekisa n'okusaasira;
10
era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era mulemenga okubaawo omuntu yenna aloowoozanga obubi mu mitima gwe eri muntu munne”
11
Naye ne bagaana okuwulira ne bankuba amabega gaabwe, ne baziba amatu gaabwe baleme okuwulira.
12
Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa bannabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.
13
“ Bwe n'abakoowoola ne bagaana okuwulira, nange ne ŋŋaana okuwulira bwe bankoowoola,” bw'ayogera Mukama w'eggye,
14
“naye n'abasaasaanya ng'omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Awo ensi gye baleka n'efuuka amatongo ensi eyeegombebwa.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14