bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zechariah 11
Zechariah 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo.
2
Kuba ebiwoobe, ggwe omuberosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese, mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde.
3
Wulira ebiwoobe by'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese. Eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento! kubanga olusaalu lwa Yoludaani luzikiriziddwa.
4
Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti, “Liisa ekisibo eky'okuttibwa;
5
abo abazigula bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde; so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
6
Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we; nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.”
7
Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, okusingira ddala ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Kisa; omulala ne ngutuuma, Kwegatta; ne ndiisa ekisibo.
8
Ne neegobako abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange ng'ebakyaye era nga nabo nga bankyaye.
9
Awo ne njogera nti, “Siibeere musumba wammwe, ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10
Ne ntwala omuggo gwange oguyitibwa “Kisa,” ne ngumenya, ne menya endagaano gye nnali nkoze n'abantu bonna.
11
Ne gumenyeka ku lunaku olwo, era abasuubuzi b'endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Mukama.
12
Ne mbagamba nti, “Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo.” Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu (30) eby'effeeza.
13
Mukama n'aŋŋamba nti, “Bisuulire omubumbi,” omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu (30) ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14
Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta,” okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isiraeri bukomye.
15
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru.
16
Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alimmenyamenya ebinuulo byazo.”
17
“Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo! ekitala kifumite mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gukalire ddala, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14