bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zechariah 6
Zechariah 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri, n'ensozi ezo zaali za bikomo.
2
Eggaali esooka yali ng'esikibwa embalaasi za lukunyu, eyokubiri ng'esikibwa embalaasi enzirugavu,
3
eggaali ey'okusatu ng'esikibwa embalaasi enjeru ne eggaali ey'okuna yali esikibwa embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
4
Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ebyo bitegeeza ki, Mukama wange?”
5
Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti, “Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu, eziva okweyanjula mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.
6
Eggaali eri esikibwa embalaasi enzirugavu evuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiikakkono, ate eziva emabega waazo enjeru, n'ezo ezitobeseemu obwoya obweru zivaayo okugenda mu nsi ey'obukiikaddyo.”
7
Eza kikuusikuusi zivaayo okugenda zitambuletambule mu nsi; n'azigamba nti, “ Mugende, mutambuletambule mu nsi.” Awo ne zitambulatambula mu nsi.
8
Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti, “Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiikakkono ziwummuza Omwoyo gwange nsi ey'obukiikakkono.”
9
Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti,
10
“Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babbulooni;
11
era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
12
omugambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba Yeekaalu ya Mukama;
13
oyo ye alizimba Yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.’ ”
14
N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu Yeekaalu ya Mukama.
15
“ Era abaali ewala balijja balizimba mu Yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14