bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Deuteronomy 23
Deuteronomy 23
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
1
Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2
Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3
Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4
kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira.
5
Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala.
6
Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.
7
Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.
8
Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
9
Bw'otabaalanga mu nsiisira okulwana n'abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi.
10
Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira:
11
naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira.
12
Era onoobanga n'ekifo ebweru w'olusiisira, gy'onoofulumanga:
13
era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumanga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu:
14
kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega.
15
Tozzanga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy'oli:
16
anaatuulanga naawe, wakati mu ggwe, mu kifo ky'anaayagalanga munda w'enzigi zo olumu, w'anaasinganga okusiima: tomujooganga.
17
Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri.
18
Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
19
Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu kyonna ekiwolwa olw'amagoba:
20
munnaggwanga si kibi okumuwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya.
21
Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe:
22
Naye bw'olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe.
23
Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n'okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n'akamwa ko.
24
Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.
25
Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo kuŋŋaano etennakungulwa eya munno.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34