bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Deuteronomy 33
Deuteronomy 33
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
1
Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa.
2
N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali:
3
Weewaawo, ayagala amawanga; Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo. Ne batuula ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo.
4
Musa yatulagira amateeka, Obusika obw'ekibiina kya Yakobo.
5
Era yali kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa, Ebika byonna ebya Isiraeri wamu:
6
Lewubeeni abenga omulamu, alemenga okufa; Naye abasajja be babenga batono:
7
Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n'ayogera nti Wulira Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omuyingize eri abantu be: N'emikono gye yeerwanirira; Era onoobanga mubeezi eri abalabe be.
8
Ne ku Leevi n'ayogera nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'omusajja wo atya Katonda, Gwe wakemera e Masa, Gwe wawakana naye ku mazzi ag'e Meriba;
9
Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye; So teyakkiriza baganda be, So teyamanya baana be ye: Kubanga bakutte ekigambo kyo, Era beekuuma endagaano yo.
10
Banaayigirizanga Yakobo emisango gyo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go: Banaateekanga eby'okwoteza mu maaso go, N'ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba ku kyoto kyo.
11
Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gye: Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako, N'abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate.
12
Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye
13
Ne ku Yusufu n'ayogera nti Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'eby'omuwendo omungi eby'omu ggulu, olw'omusulo, N'olw'ennyanja egalamira wansi,
14
N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ebibala by'enjuba. N'olw'eby'omuwendo omungi ebiva mu kukula kw'emyezi,
15
N'olw'ebikulu eby'ensozi ez'edda, N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ensozi ezitaggwaawo.
16
N'olw'eby'omuweado omungi eby'ensi n'okujjula kwayo, N'ekisa ky'oyo eyatuula mu kisaka: Omukisa gujje ku mutwe gwa Yusufu, Ne ku bwezinge bw'omutwe gw'oyo eyayawulibwa ne baganda be.
17
Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe; N'amayembe ge, mayembe ga mbogo: Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z'ensi: Era bwe bukumi bwa Efulayimu, Era ze nkumi za Manase.
18
Ne ku Zebbulooni n'ayogera nti Sanyuka, Zebbulooni; mu kufuluma kwo, Naawe, Isakaali, mu weema zo.
19
Baliyita amawanga eri olusozi; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu: Kubanga balinuuna okujjula kw'ennyanja, N'obugagga obukweke obw'omu musenyu.
20
Ne ku Gaadi n'ayogera nti Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atuula ng'empologoma enkazi, N'ataagula omukono; era obwezinge bw'omutwe.
21
Ne yeeterekera omugabo ogw'olubereberye, Kubanga, eyo ekitundu eky'omugabi w'amateeka, kyaterekwa; N'ajja awamu n'emitwe gy'abantu, Yakola eby'obutuukirivu, ebya Mukama, N'emisango gye eri Isiraeri.
22
Ne ku Ddaani n'ayogera nti Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani.
23
Ne ku Nafutaali n'ayogera nti Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi, Anyiye omukisa gwa Mukama: Ggwe lya obugwanjuba n'obukiika obwa ddyo.
24
Ne ku Aseri n'ayogera nti Aseri aweebwe omukisa gw'abaana; Asiimibwenga baganda be. Era annyikenga ekigere kye mu mafuta
25
Ebisiba byo binaabanga kyuma na lukomo; Era ng'ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga bwe gatyo.
26
Tewali afaanana Katonda, ggwe Yesuluni, Eyeebagala ku ggulu olw'okukubeera, Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga:
27
Katonda ataggwaawo kye kifo ky'otuulamu, Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira: Naasimbulamu abalabe mu maaso go, Naayogera nti Zikiriza.
28
Era Isiraeri atuula mirembe, Oluzzi lwa Yakobo luli lwokka, Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge; Weewaawo, eggulu lye litonnya omusulo.
29
Olina omukisa ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Engabo ey'okubeerwa kwo, Era kye kitala eky'obukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34