bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Deuteronomy 24
Deuteronomy 24
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
1
Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:
2
Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala.
3
Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;
4
bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
5
Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza.
6
Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.
7
Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omubbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.
8
Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola.
9
Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri.
10
Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe.
11
Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli.
12
Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe:
13
tolemanga kumuddiza musingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14
Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muwendo gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo:
15
ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
16
Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.
17
Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu:
18
naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
19
Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwandu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.
20
Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.
21
Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu.
22
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34