bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Deuteronomy 8
Deuteronomy 8
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
1
Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.
2
Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.
3
N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.
4
Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana.
5
Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akangavvula omwana we, bw'atyo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.
6
Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.
7
Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;
8
ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;
9
ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo.
10
Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.
11
Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero:
12
bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo;
13
era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze;
14
kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;
15
eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale;
16
eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo:
17
era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.
18
Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.
19
Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.
20
Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34