bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Deuteronomy 29
Deuteronomy 29
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
1
Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu.
2
Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu nsi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri ensi ye yonna;
3
okukema okukulu amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero biri ebikulu:
4
naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero.
5
Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo.
6
Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe:
7
Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne tubatta:
8
ne tulya ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka.
9
Kale mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubikolenga; mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.
10
Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
11
abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go:
12
olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro kye, by'alagaana naawe leero:
13
akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
14
So siragaana ndagaano eno ne ndayira ekirayiro kino eri mmwe mwekka;
15
naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero:
16
(kubanga mumaayi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu;
17
era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;)
18
walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusinso;
19
era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne bwe nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu:
20
Mukama taamusonyiwenga; naye obusungu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu.
21
Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
22
Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'ensi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza;
23
era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ng'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye:
24
amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eno bwe kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki?
25
Abantu ne balyoka boogera nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
26
ne bagenda ne baweereza bakatonda abalala, ne babasinza, bakatonda be baali tebamanyi, era be yali tabawadde
27
obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
28
kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero.
29
Eby'ekyama biba bya Mukama Katobda waffe: naye ebibikkulibwa biba byaffe era bya baana baffe, emirembe gyonna; tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omu mateeka gano.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34