bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Isaiah 13
Isaiah 13
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
1
Omugugu gwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba.
2
Muwanike ebendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusize eddoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu.
3
Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi olw'obusungu bwange, abange abeenyumiriza n'amalala.
4
Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi ng'olweggwanga eddene! oluyoogaano olw'okuleekaana kw'obwakabaka obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye akuŋŋaanyizza eggye olw'olutalo.
5
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama n'ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe, okuzikiriza ensi yonna.
6
Muwowoggane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
7
Emikono gyonna kyegiriva giddirira na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka:
8
era balikeŋŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: baliwuniikirira bokka na bokka; amaaso gaabwe galiba maaso ga muliro.
9
Laba olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
10
Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi tegulyaka musana gwagwo.
11
Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwabwe n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
12
Ndifuula omusajja okuba ow'omuwendo okusinga ezaabu ennungi omusajja okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri.
13
Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunaku olw'ekiruyi kye.
14
Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa era ng'endiga ezitaliiko musumba, balikyuka buli muntu okudda mu bantu b'ewaabwe ye, era balidduka buli muntu mu nsi yaabwe ye.
15
Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala.
16
N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi:
17
Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu tebaligisanyukira.
18
N'emitego gyabwe girimenyaamenya abavubuka so tebalisaasira zzadde lya lubuto; eriiso lyabwe teririsonyiwa baana bato.
19
Ne Babulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola.
20
Tekiisulibwengamu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbegayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo nbuzi zaabwe.
21
Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebya zigeye binaaziniranga eyo.
22
N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera kyakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66