bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Isaiah 60
Isaiah 60
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
1
Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.
2
Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
3
N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo.
4
Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.
5
Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira.
6
Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira ez'e Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.
7
Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.
8
Bano be baani ababuuka ng'ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo?
9
Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.
10
Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.
11
Era n'enzigi zo ziaaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.
12
Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
13
Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa.
14
N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.
15
Kubanga walekebwa n'okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggwaawo, essanyu ery'emirembe emingi.
16
N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Owaamaanyi owa Yakobo.
17
Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma: era. ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu.
18
Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza.
19
Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa: naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.
20
Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.
21
Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.
22
Omuto alifuuka lukumi n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66