bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Isaiah 34
Isaiah 34
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 35 →
1
Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2
Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3
Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirisaanuuka olw'omusaayi gwabwe.
4
N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.
5
Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
6
Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kisavuwadde n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.
7
N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne ziseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu.
8
Kubanga lwe lunaku olw'okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni.
9
N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka.
10
Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.
11
Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
12
Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu.
13
N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.
14
N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo.
15
Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.
16
Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
17
Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gubigabidde n'omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66