bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Isaiah 14
Isaiah 14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
1
Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo: n'omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo.
2
N'amawanga balibatwala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n'ennyumba ya Isiraeri baba nabo mu nsi ya Mukama okuba baddu n'abazaana: era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.
3
Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwuunula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza,
4
awo oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n'oyogera nti Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga kya zaabu nga kiweddewo!
5
Mukama amenye omuggo ogw'ababi, omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga;
6
ogwakubanga amawanga obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n'ekiruyi, ne guyigganyanga ne gutaziyizibwa muntu yenna.
7
Ensi yonna ewummudde, era eradde: babaguka okuyimba.
8
Weewaawo, enfugo zikusanyukira, emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti Kasookedde ogalamizibwa, tekulinnyanga ku ffe atutema.
9
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe.
10
Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe?
11
Ekitiibwa kyo kissibwa e magombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo: envunyu zaaliiriddwa wansi wo, era envunyu zikubisseeko.
12
Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
13
N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono:
14
ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.
15
Naye olissibwa e magombe, ku njuyi ez'enkomerero ez'obunnya.
16
Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banaakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka:
17
eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe?
18
Bakabaka bonna ab'amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye.
19
Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.
20
Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna.
21
Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga.
22
Nange ndibagolokokerako, bw'ayogera Mukama ow'eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.
23
Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
24
Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo;
25
ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange: kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe.
26
Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27
Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?
28
Mu mwaka kabaka Akkazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno.
29
Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.
30
N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa.
31
Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.
32
Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66