bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Isaiah 8
Isaiah 8
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
1
Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n'ekkalaamu ey'omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi;
2
nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3
Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi.
4
Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.
5
Mukama n'ayogera nange nate omulundi omulala nti
6
Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n'omwana wa Lemaliya;
7
kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona:
8
era alyeyongera n'akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n'okugololwa kw'ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri; nga bwe yenkana obugazi.
9
Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka.
10
Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe.
11
Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti
12
Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka.
13
Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe.
14
Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.
15
Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa.
16
Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.
17
Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya.
18
Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19
Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?
20
Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21
Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu:
22
era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza eky'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66