bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 1
1 Timothy 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu okusinziira ku kiragiro kya Katonda Omulokozi waffe, ne Kristo Yesu essuubi lyaffe,
2
nkuwandiikira ggwe Timoteewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.
3
Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakusaba nga ŋŋenda e Makedooniya, oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.
4
Bagambe balekere awo okwemaliranga ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez'amannya g'abajjajjaabwe. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky'okuyigiriza abantu ebya Katonda, ebiri mu kukkiriza.
5
Ekigendererwa mu kiragiro kino kwe kwagala, okusibuka mu mutima omulongoofu, n'omwoyo omulungi, n'okukkiriza okutaliimu bukuusa.
6
Ebyo abantu abamu babivaako, ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.
7
Beefuula abayigiriza b'amateeka ga Katonda, sso nga tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.
8
Tumanyi ng'Amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu ngeri entuufu.
9
Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala.
10
Gaateekerwawo abenzi n'abalya ebisiyaga, ababuzaawo abantu, abalimba, n'abalayirira obwereere, n'abo bonna abakola ebitakkiriziganya na njigiriza ntuufu.
11
Enjigiriza eyo entuufu ye yiiyo ekkiriziganya n'Amawulire Amalungi, era ageekitiibwa, aga Katonda atenderezebwa, agankwasibwa.
12
Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe, eyampa amaanyi ag'okumuweereza, era eyalaba nga nsaanira, n'ankwasa omulimu gwe.
13
Newaakubadde ng'edda namwogerako bubi, ne mmuyigganya, era ne mmuvoola, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya, nga sinnaba kumukkiriza.
14
Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nnyo, n'ampa okukkiriza, era n'okwagala, bye tufunira mu Kristo Yesu.
15
Ekigambo kino kituufu ddala, kisaanye okukkiriza ekigamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.” Mu bo nze nsingira ddala okuba omwonoonyi.
16
Kyokka Katonda yankwatirwa ekisa: mu nze asingira ddala okuba omwonoonyi, Kristo Yesu mw'aba alagira okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbe ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza, ne bafuna obulamu obutaggwaawo.
17
Kabaka ow'olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga era aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
18
Mwana wange Timoteewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo by'abalanzi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n'obuzira,
19
ng'okukkiriza era n'omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo, kubanga abalala abagaana okuba n'omwoyo ogwo omulungi, bafiirwa okukkiriza kwabwe.
20
Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Alekizanda be nawaayo eri Sitaani balekere awo okuvumanga Katonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6