bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 4
1 Timothy 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Mwoyo Mutuukirivu ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasuula okukkiriza, ne bagoberera emyoyo egiwubisa, era ne bagoberera enjigiriza za Sitaani,
2
nga bawubisibwa obukuusa bw'abantu abalimba, ab'emitima egiri ng'egyasiriizibwa ekyuma ekyengereredde.
3
Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era ababagaana okulya ebyokulya ebimu, Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
4
Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, era tewali kizira, kasita kiriirwa mu kumwebaza,
5
kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda era n'okumusinza.
6
Bw'onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'oliisibwa n'ebigambo eby'amazima eby'okukkiriza, n'enjigiriza ennungi gye wagoberera.
7
Naye enfumo ezitaliimu ddiini, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiize okussangamu Katonda ekitiibwa,
8
kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja.
9
Ekigambo ekyo kituufu era kisaana okukkiririza ddala.
10
Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda Nnannyinibulamu Omulokozi w'abantu bonna, na ddala ow'abo abakkiriza.
11
Abantu balagirenga ebyo, era obibayigirizenga.
12
Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
13
Nyiikiriranga okusoma ebyawandiikibwa, n'okubuulirira abantu ebya Katonda, n'okubayigiriza okutuusa lwe ndijja.
14
Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe kye waweebwa, abantu abakulu bwe baakussaako emikono gyabwe, ng'abalanzi bwe baayogera.
15
Ebyo birowoozenga era obissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi.
16
Ebyo binywerereko, nga weekuuma mu mpisa zo, ne mu by'oyigiriza, kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola ggwe wennyini, era n'abo abakuwulira.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6