bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 5
1 Timothy 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Toboggoleranga musajja mukadde, wabula mubuulirirenga nga kitaawo. Abavubuka babuulirirenga nga baganda bo, abakazi abakadde babuulirirenga nga bazadde bo,
2
n'abakazi abato babuulirirenga nga bannyoko, ng'omutima gwo mutukuvu ddala.
3
Bannamwandu, abayisa nga bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa.
4
Nnamwandu bw'abanga n'abaana oba abazzukulu, basookenga okuyiga okutuukirizanga ebyo bye bateekwa okukolera ab'omu maka g'ewaabwe, bwe batyo babeeko kye basasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
5
Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, aba yeetadde mu mikono gya Katonda, era anyiikira okwegayirira n'okusaba Katonda emisana n'ekiro.
6
Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba afudde, newaakubadde ng'akyali mulamu.
7
Ebyo bibalagire, baleme kubaako kye banenyezebwamu.
8
Kyokka oyo atafa ku babe, naddala ab'omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
9
Nnamwandu atannaweza myaka nkaaga, tomuwandiikanga mu bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu.
10
Nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yakolanga ebikolwa ebirungi: ng'okukuza obulungi abaana be, nga yayanirizanga abagenyi, nga yanaazanga ebigere by'abantu ba Katonda, nga yayambanga abali mu buzibu, era nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11
Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga kubawandiika mu lubu lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa.
12
Bwe batyo ne bessaako omusango olw'obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza.
13
N'ekirala, bayiga okwonoona ebiseera byabwe nga batambula okubuna amayumba. Si bagayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe, ne boogera n'ebitasaanira kwogera.
14
Kyenva njagala bannamwandu abakyali abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako bubi,
15
kubanga bannamwandu abamu bakyamye, ne bagoberera Sitaani.
16
Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab'olulyo lwe, ye aba abalabiriranga, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kireme kuzitoowererwa, kiryoke kisobole okulabiriranga bannamwandu abataliiko abayamba.
17
Abakulembeze b'abakkiriza, abafuga obulungi, basaanira empeera nnene, naddala abo abafaabiina mu kutegeeza n'okuyigiriza abantu ekigambo kya Katonda,
18
kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ente ng'ewuula eŋŋaano, togisibangako mumwa.” Era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”
19
Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze, okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.
20
Kyokka abo aboonoona, banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye.
21
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abatukuvu, okugobereranga ebyo bulijjo, nga teweekubiira, wadde okusaliriza.
22
Toyanguyirizanga kussaako mikono gyo ku muntu n'omu. Teweetabanga mu bibi bya balala. Weekuume obeerenga mulongoofu.
23
Lekera awo okunywanga amazzi gokka, naye nywangako ne ku twenge tw'emizabbibu olw'olubuto lwo, n'olw'okulwalalwala kwo.
24
Ebibi by'abantu abamu birabika mu lwatu, nga tebannasalirwa musango, kyokka eby'abalala birabika luvannyuma.
25
N'ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo, birabika mu lwatu. Ne bwe biba nga tebirabise mu lwatu, tebirirema kulabika.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6