bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 3
1 Timothy 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Kituufu nti: “Buli muntu ayagala okuba omulabirizi, aba yeegombye omulimu mulungi.”
2
Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza.
3
Ateekwa okuba nga si mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula abe nga muwombeefu, nga si muyombi, era nga talulunkanira byakufuna.
4
Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa.
5
Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo?
6
Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, sikulwa nga yeekulumbaza, n'asalirwa omusango, nga Sitaani bwe yagusalirwa.
7
Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani.
8
Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna.
9
Basaana okukuuma ekyama ky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
10
Era basookenga kugezebwa, balyoke baweereze nga tebalina kye banenyezebwamu.
11
N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu.
12
Omudyakoni ateekwa okuba n'omukazi omu yekka, era ng'asobola okufuga obulungi abaana be, n'amaka ge,
13
kubanga ababa bakoze obulungi mu budyakoni, bafuna ekifo ekya waggulu, era baba n'obuvumu bungi mu kukkiriza kwabwe mu Kristo Yesu.
14
Nsuubira okujja amangu gy'oli. Kyokka bino mbikuwandiikira,
15
ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima.
16
Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti: “Yalabika nga muntu ddala, n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu. Yalabibwa bamalayika, n'amanyisibwa mu mawanga. Yakkirizibwa ab'omu nsi, n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6