bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 2
1 Timothy 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Okusookera ddala, mbasaba muwanjagenga, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw'abantu bonna.
2
Era musabirenga bakabaka, n'abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi, nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
3
Ekyo kye kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,
4
ayagala abantu bonna balokolebwe, era bamanye amazima.
5
Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w'abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,
6
eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.
7
Era nze kye nateekerwawo mbe omutume era omuyigiriza w'ab'amawanga amalala, mbategeeze eby'okukkiriza n'eby'amazima. Njogera mazima, sirimba.
8
N'olwekyo njagala abasajja, buli wantu beegayirirenga Katonda, nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
9
Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo,
10
wabula bakole ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11
Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga, nga yeewombeese.
12
Sikkiriza mukazi kuyigiriza, wadde okuba n'obuyinza ku musajja, wabula asaana asirike,
13
kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Haawa.
14
Era Adamu si ye yalimbibwalimbibwa, wabula omukazi ye yalimbibwalimbibwa, n'agwa mu kibi.
15
Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala, kasita anaanywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, ne mu butuukirivu, ne mu kwegendereza.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6