bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Timothy 6
1 Timothy 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Abo bonna abali mu kikoligo ky'obuddu, basaana okussaamu ennyo bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda era n'okukkiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa.
2
Abaddu abo abalina bakama baabwe abakkiriza, tebabanyoomanga olw'okuba baganda baabwe. Wabula beeyongere bweyongezi okubaweereza obulungi, kubanga abo abagasibwa olw'okuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga.
3
Buli muntu ayigiriza mu ngeri endala, nga takkiriziganya n'ebigambo ebituufu ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'enjigiriza etabagana n'okussaamu Katonda ekitiibwa,
4
aba ajjudde akazoole k'okubuuzabuuza ku buli kintu n'okuwakana ku buli kigambo, ebivaamu obuggya, okuyomba, okuvuma, okuwaayira,
5
n'okukaayana. Ebyo byonna bikolebwa bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina mazima, abalowooza nti okussaamu Katonda ekitiibwa kuba kwenoonyeza bya bugagga.
6
Weewaawo okussaamu Katonda ekitiibwa kulimu obugagga bungi, singa omuntu amatira mu ebyo by'alina,
7
kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu.
8
Naye bwe tuba n'emmere n'ebyokwambala, ebyo bitumalenga.
9
Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira,
10
kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
11
Naye ggwe omuntu wa Katonda, weewalenga ebyo byonna, ogobererenga obutuukirivu, okussaamu Katonda ekitiibwa, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuteefu.
12
Lwana bulungi olutalo olw'okukkiriza, olyoke ofune obulamu obutaggwaawo Katonda bwe yakuyitira, n'oyatulira ddala okukkiriza kwo, mu maaso g'abajulirwa abangi.
13
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Yesu Kristo eyayatulira ddala amazima mu maaso ga Pontiyo Pilaato,
14
okuumenga kye nakulagira, oleme okubaako akamogo, wadde ky'onenyezebwamu, okutuusiza ddala Mukama waffe Yesu Kristo lw'alirabika.
15
Okujja kwe okwo, Katonda atenderezebwa era nnannyini buyinza, kabaka wa bakabaka era mukama w'abakama, alikuleeta mu kiseera kyakwo ekituufu.
16
Ye yekka atafa era abeera mu kitangaala ekitasemberekeka, tewali yali amulabye, era tewali ayinza kumulaba. Ye weekitiibwa era ye w'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
17
Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa.
18
Basaanye okukola obulungi, balyoke babe bagagga mu birungi bye bakola, era babe ba kisa era abagabi.
19
Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala.
20
Timoteewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga emboozi ezitassaamu Katonda kitiibwa, n'empaka ez'obusirusiru, abo abeerimba ze bayita ez'amagezi.
21
Abamu abagamba nti bagalina, bakyama ne bava mu kukkiriza. Katonda abakwatirwe mmwe ekisa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6