bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 1
Galatians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omutume, obutume bwange tebwava mu bantu, wadde okuyita ku muntu n'omu, wabula bwava eri Yesu Kristo, ne Katonda Kitaffe, eyazuukiza Yesu oyo.
2
Nze n'abooluganda bonna be ndi nabo, tuwandiikira ab'ebibiina by'abakkiriza Kristo ebiri e Galatiya.
3
Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe ekisa, era babawe emirembe.
4
Kristo oyo yeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi, nga Katonda waffe era Kitaffe bwe yayagala.
5
Katonda oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
6
Mbeewuunya mmwe! Mu kaseera kano akatono, muvudde ku oyo eyabayita olw'ekisa kya Kristo, ne muwuliriza Amawulire Amalungi amalala.
7
Mu butuufu, tewali Mawulire Malungi malala, wabula waliwo abantu abamu ababatawaanya, nga bagezaako okukyamya Amawulire Amalungi aga Kristo.
8
Kyokka ne bwe tuba ffe, oba malayika avudde mu ggulu, n'abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
9
Nga bwe twayogera okusooka, era ne kaakano nkiddamu nti: bwe wabangawo abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
10
Kale kaakano nkolerera kusiimibwa bantu, oba Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa mbadde nkyanoonya kusanyusa bantu, sandibadde muweereza wa Kristo.
11
Abooluganda, mbategeeza nti Amawulire Amalungi ge nabategeeza si ga bantu buntu.
12
Saagafuna kuva ku muntu, era tewali n'omu yaganjigiriza, wabula Yesu yennyini ye yagammanyisa.
13
Mwawulira nga bwe nabeeranga, nga nkyagoberera eddiini y'Ekiyudaaya, era mwawulira nga bwe nayigganyanga ennyo ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, nga ngezaako okukizikiriza.
14
Era nasinga nnyo Bayudaaya bannange bwe twakula, ne mbasukkirira mu kujjumbira obulombolombo bwa bajjajjaffe.
15
Naye Katonda yanjawula nga sinnava na mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye.
16
Era bwe yasiima okummanyisa Omwana we, ndyoke mmutegeeze ab'amawanga amalala, sirina gwe neebuuzaako,
17
wadde okwambuka e Yerusaalemu eri abo abansooka okuba abatume, wabula nagenda mu Buwarabu, oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
18
Ate bwe waayitawo emyaka esatu, ne nnyambuka e Yerusaalemu okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.
19
Kyokka ssaalaba mulala ku batume, okuggyako Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20
Ndayira mu maaso ga Katonda nti bye mpandiika bya mazima, sirimba.
21
Oluvannyuma nagenda mu bitundu by'e Siriya ne Kilikiya.
22
Era nali sinnamanyibwa ba bibiina by'abakkiriza Kristo, ab'omu Buyudaaya,
23
wabula baawuliranga buwulizi, nti oyo eyatuyigganyanga edda, kaakano ategeeza abantu bakkirize ekyo kye yagezangako okuzikiriza.
24
Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6