bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 5
Galatians 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Kristo yatufuula ba ddembe. Kale munywere, muleme okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2
Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwa, kitegeeza nti Kristo taliiko ky'abagasa.
3
Era ntegeeza buli muntu akomolebwa nti ateekwa okutuukiriza ebyo byonna Amateeka bye galagira.
4
Mmwe abaagala okuba abatuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, mwesaze ku Kristo, era mweggye ku kisa kya Katonda.
5
Naye ffe tusuubira nti Katonda alitufuula abatuukirivu, era ekyo kye tulindirira olw'amaanyi ga Mwoyo wa Katonda akolera mu kukkiriza kwaffe.
6
Bwe tuba nga twegasse ne Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekiriiko kye kifuula. Ekikulu kwe kukkiriza, okukolera mu kwagala.
7
Mwali bulungi. Ani eyabaziyiza okugondera amazima?
8
Okusendasenda okwo, si kwa Katonda abayita.
9
Ekizimbulukusa ekitono, kizimbulukusa ekitole kyonna.
10
Naye neesiga Mukama nti mujja kulowooza nga nze, era nti oyo abateganya ne bw'aba ani, alibonerezebwa.
11
Naye nze, abooluganda, oba nga nkyayigiriza abantu nti okukomolebwa kwetaagibwa, lwaki nkyayigganyizibwa? Singa ddala njigiriza ekyo, olwo omusaalaba guba tegukyali kyesittazo.
12
Nandyagadde abo ababateganya beeraawe!
13
Abooluganda, mmwe mwayitibwa kuba ba ddembe. Kyokka muleme kufugibwa kwegomba kwa mubiri, nga mwesiga eddembe eryo, wabula mwagalanenga, era buli omu abeerenga muweereza wa munne.
14
Amateeka gonna gatuukirizibwa mu kiragiro kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
15
Naye oba nga mulumagana era mulyaŋŋana, mwekuume, sikulwa nga mwezikiriza.
16
Naye ŋŋamba nti mugobererenga Mwoyo, lwe mutaatuukirizenga ebyo omubiri bye gwegomba.
17
Ebyo omubiri bye gwegomba birwanagana n'ebyo Mwoyo by'ayagala. Ate ebyo Mwoyo by'ayagala, birwanagana n'ebyo omubiri bye gwegomba. N'ekivaamu, ne mutasobola kukola ebyo bye mwagala.
18
Naye bwe munaagobereranga Mwoyo, olwo nga temukyafugibwa Mateeka.
19
Ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa bulungi, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu,
20
okusinza ebitali Katonda, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, obutakkaanya, okwesalamu,
21
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.
22
Naye Mwoyo aleeta kwagala, kusanyuka, mirembe, kugumiikiriza, kisa, bulungi, bwesigwa,
23
buwombeefu, na kwegendereza. Ebyo tebiriiko tteeka libiwakanya.
24
Era abo aba Kristo Yesu, baakomerera ku musaalaba omubiri gwabwe n'omululu gwagwo, n'okwegomba kwagwo.
25
Oba nga Mwoyo ye atuwa obulamu, Mwoyo ye abanga atufuga.
26
Tulemenga okwenyumiriza, wadde buli omu okusosonkereza munne, n'okumukwatirwa obuggya.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6