bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 3
Galatians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Mmwe ab'e Galatiya ababuyabuya, ani yabaloga? Mwannyonnyolwa bulungi, ne mulaba Yesu Kristo nga bwe yakomererwa ku musaalaba.
2
Kino kyokka kye njagala muntegeeze: mwafuna Mwoyo Mutuukirivu lwa kubanga mwatuukiriza ebyo Amateeka bwe galagira, oba lwa kuwulira na kukkiriza Amawulire Amalungi?
3
Bwe mutyo temulina magezi? Mmwe abaatandika n'amaanyi aga Mwoyo Mutuukirivu, ate kaakano mwagala mumalirize n'amaanyi agammwe ku bwammwe?
4
Ebyo bye mwabonaabonamu bya bwereere? Ddala si bya bwereere.
5
Katonda abawa Mwoyo we, era akola ebyamagero mu mmwe, lwa kubanga mutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, oba lwa kubanga mwawulira ne mukkiriza Amawulire Amalungi?
6
Mulowooze ku byatuuka ku jjajjaffe Aburahamu. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
7
Kale mutegeere nti abalina okukkiriza, be bazzukulu ba Aburahamu.
8
Olw'okulengera ebiri mu maaso nti Katonda aliwa ab'amawanga amalala obutuukirivu olw'okukkiriza kwabwe, ekyawandiikibwa kyekyava kitegeeza edda Aburahamu Amawulire Amalungi nti: “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”
9
Bwe kityo abo bonna abalina okukkiriza, baweebwa omukisa nga Aburahamu eyalina okukkiriza bwe yaguweebwa.
10
Abo abeesigama ku kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, bakolimiddwa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli ataatuukirizenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Amateeka, akolimiddwa.”
11
Kimanyiddwa nti tewali n'omu aba mutuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”
12
Naye Amateeka, go tegeesigama ku kukkiriza. Kale, ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, anaabanga mulamu mu go.”
13
Naye ffe Kristo yatununula, n'atuggya mu kikoligo ekireetebwa Amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli awanikibwa ku muti, akolimiddwa.”
14
Kristo yessaako ekikolimo ekyo, omukisa Katonda gwe yasuubiza Aburahamu gulyoke guweebwe n'ab'amawanga amalala olwa Kristo Yesu, era olw'okukkiriza, tulyoke tufune Mwoyo Mutuukirivu eyasuubizibwa.
15
Abooluganda, ne mu nkola ey'abantu eya bulijjo, omuntu bw'amala okukola endagaano n'enywera, tewali n'omu akkirizibwa kugiggyawo oba okugyongerako.
16
Ebyo ebyasuubizibwa, byasuubizibwa Aburahamu ne muzzukulu we. Ekyawandiikibwa tekigamba nti: “Ne bazzukulu be,” ng'abangi, wabula kigamba nti “Ne muzzukulu we,” ng'ali omu, ye Kristo.
17
Kye ŋŋamba kye kino nti Amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu, tegaggyaawo ndagaano eyanywezebwa Katonda, era tegadibya ekyasuubizibwa.
18
Kale oba nga Katonda ky'awa kyesigama ku Mateeka, olwo kiba tekikyesigamye ku kusuubiza kwe; naye Katonda yakiwa Aburahamu kubanga yakimusuubiza.
19
Kale Amateeka gaateekebwawo lwaki? Gaateekebwawo, okwonoona kulyoke kumanyike, era gaali ga kubeerawo okutuusa ku kujja kwa muzzukulu wa Aburahamu eyasuubizibwa. Go Amateeka gaaleetebwa bamalayika, nga gayita ku mutabaganya.
20
Kyokka omutabaganya abaawo nga waliwo enjuyi bbiri. Naye Katonda ali omu.
21
Kale Amateeka galwanagana n'ebyo Katonda bye yasuubiza? Nedda, tekisoboka. Singa gaateekebwawo nga ge gayinza okuleeta obulamu, olwo abantu bandibadde batuukirivu olw'okutuukiriza ebyo bye galagira.
22
Naye ekyawandiikibwa kigamba nti ekibi kifuga byonna, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abo abakkiriza, nga kibaweebwa olw'okukkiriza Yesu Kristo.
23
Okukkiriza bwe kwali tekunnajja, Amateeka gaatukuumanga nga tuli basibe, okutuusa okukkiriza lwe kwalagibwa.
24
Kale Amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo lwe yajja, tulyoke tube batuukirivu olw'okukkiriza.
25
Naye kaakano okukkiriza nga bwe kwajja, tetukyafugibwa mukuumi.
26
Olw'okukkiriza, mwenna muli baana ba Katonda mu Kristo Yesu,
27
kubanga mmwe mwenna ababatizibwa mu Kristo, mwayambala Kristo.
28
Tewakyali njawulo wakati w'Omuyudaaya n'ow'eggwanga eddala, wakati w'omuddu n'ow'eddembe, wakati w'omusajja n'omukazi. Mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
29
Kale nga bwe muli aba Kristo, muli bazzukulu ba Aburahamu, era mulifuna ekyo Katonda kye yasuubiza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6