bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 4
Galatians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Naye ŋŋamba nti omusika bw'aba ng'akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga byonna ye nnyinibyo.
2
Aba mu mikono gya bakuza be, okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira lwe kiggwaako.
3
Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato mu by'omwoyo, twali baddu abafugibwa emisambwa egy'oku nsi kuno.
4
Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we n'azaalibwa omukazi, era n'afugibwa Amateeka
5
anunule abo abafugibwa Amateeka, tulyoke tufuuke abaana ba Katonda.
6
Era olw'okuba abaana ba Katonda, Katonda kyeyava atuma Mwoyo w'Omwana we, mu mitima gyaffe. Mwoyo oyo akoowoola nti: “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”!
7
Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana, era oba ng'oli mwana, Katonda alikuwa ebyo by'awa abaana be.
8
Edda mwali temumanyi Katonda, n'olwekyo mwali baddu b'ebyo ebitali Katonda.
9
Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga bwe mumanyiddwa Katonda, muyinza mutya okuddayo emabega eri obuyinza bw'emisambwa eminafu era egitagasa? Era mwagala giddemu okubafuga?
10
Mukuza ennaku, n'emyezi, n'ebiro, era n'emyaka.
11
Ntya nti sikulwa ng'okutegana kwange mu mmwe kufa bwereere.
12
Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange nafuuka nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola.
13
Mumanyi nga nze okulwala kye kyanfunyisa omukisa ne mbategeeza mmwe Amawulire Amalungi omulundi ogwasooka.
14
Era newaakubadde nga nabakaluubirira olw'obulwadde bwange, naye temwannyooma, wadde okunneekanasa, wabula mwannyaniriza nga bwe mwandyanirizza malayika wa Katonda, nga bwe mwandyanirizza Kristo Yesu.
15
Kale essanyu lyammwe eryo lyadda wa? Nze kennyini nnyinza n'okuboogerako nti singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugampa.
16
Kaakano nfuuse mulabe wammwe olw'okubategeeza amazima?
17
Abo abalabika ng'ababalumirwa, ebigendererwa byabwe si birungi. Kye baagala kwe kubaggya ku nze, mudde ku luuyi lwabwe.
18
Naye kirungi okulumirwa abantu, bwe kiba ng'ekigendererwa kirungi. Ekyo kya mazima bulijjo, sso si lwe mba nammwe lwokka.
19
Baana bange abaagalwa, ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala, nange bwe nnumwa bwe ntyo ku lwammwe, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe.
20
Singa ndi nammwe kaakano, nandimanye kye nsaanye okwogera, kubanga ndi mweraliikirivu nnyo ku lwammwe.
21
Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa Amateeka. Temuwulira Mateeka kye gagamba?
22
Kyawandiikibwa nti Aburahamu yalina abaana babiri: omu yamuzaala mu muzaana, omulala mu wa ddembe.
23
Ow'omuzaana yazaalibwa mu ngeri ya bulijjo. Kyokka ye ow'ow'eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza kwa Katonda.
24
Ebyo biri nga lugero: abakazi abo ababiri z'Endagaano bbiri. Emu yakolerwa ku lusozi Sinaayi, ye azaala abaana ab'omuddu. Endagaano eyo ye Hagari.
25
Hagari oyo lwe Lusozi Sinaayi, oluli mu Buwarabu; afaanaanyirizibwa ne Yerusaalemu ekiriwo kaakano, kubanga kyo n'abantu baakyo bali mu buddu.
26
Naye Yerusaalemu eky'omu ggulu kya ddembe, era kyo ye nnyaffe.
27
Kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaala: leekaana nnyo ggwe atalumwanga kuzaala, kubanga omukazi eyalekebwawo, alina abaana bangi okusinga oyo ali ne bba.”
28
Kale mmwe, abooluganda, muli baana abaazaalibwa olw'okusuubiza kwa Katonda, nga Yisaaka bwe yali.
29
Era okufaanana nga bwe kyali mu kiseera kiri, oyo eyazaalibwa mu ngeri eyaabulijjo, bwe yayigganya eyazaalibwa olwa Mwoyo wa Katonda, ne kaakano bwe kiri.
30
Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Goba omuzaana n'omwana we, kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'ow'ow'eddembe.”
31
Kale, abooluganda, ffe tetuli baana ba muzaana, wabula ba wa ddembe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6