bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 6
Galatians 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
2
Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo.
3
Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba.
4
Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala,
5
kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe.
6
Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, atoole ku bibye by'alina, aweeko amuyigiriza.
7
Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula.
8
Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo.
9
Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula.
10
Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza.
11
Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnukuta ennene.
12
Abo abaagala okwenyumiririza mu byokungulu, be baagala okubawaliriza okukomolebwa. Bakikola balyoke baleme kuyigganyizibwa olw'omusaalaba gwa Kristo.
13
N'abo abakomolebwa, tebagoberera ebyo Amateeka bye galagira, wabula baagala mukomolebwe, bo balyoke beenyumirize olw'okukomolebwa kwammwe.
14
Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere.
15
Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya.
16
Emirembe n'okusaasira bibeerenga ku bantu ba Katonda, abo bonna abagoberera ekiragiro kino.
17
Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu,
18
Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe, abooluganda. Amiina.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6