bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Galatians 2
Galatians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Oluvannyuma nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena, nayambuka nate e Yerusaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito.
2
Nagendayo kubanga Katonda yandaga nti nteekwa okugendayo. Ne ntuula n'abatume mu kyama, ne mbanjulira Amawulire Amalungi ge ntegeeza ab'amawanga amalala. Ekyo nakikola, sikulwa ng'omulimu gwe nali nkoze ne gwe nali ŋŋenda okukola, guba ogw'obwereere.
3
Tito gwe nali naye, newaakubadde nga yali Muyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa.
4
Waaliwo abooluganda ab'obulimba abaasensera mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, nga baagala okutuzza mu buddu.
5
Abo tetwabagonderako n'akatono. Twayagala tulwanirire amazima g'Amawulire Amalungi ku lwammwe.
6
Abo abaabalibwanga ng'abakulembeze oba ddala bwe bali– ekyo ku nze si nsonga kubanga Katonda tasosola mu bantu– abakulembeze abo, tebalina kye bannyongerako.
7
Naye baalaba nga nakwasibwa omulimu ogw'okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, nga Peetero bwe yakwasibwa ogw'okugategeeza Abayudaaya.
8
Katonda eyafuula Peetero okuba omutume w'Abayudaaya, era ye yafuula nange okuba omutume w'ab'amawanga amalala.
9
Era Yakobo, Keefa ne Yowanne abaalowoozebwanga okuba empagi, bwe baategeera omulimu gwe yampa, ne batukwata mu ngalo, nze ne Barunaba, okulaga nti tuli bumu nabo. Ne tukkaanya: bo bagende eri Abayudaaya, ffe tugende eri ab'amawanga amalala.
10
Wabula baatusaba tujjukirenga abantu baabwe abaavu, era ekyo nanyiikira nnyo okukikola.
11
Keefa bwe yajja mu Antiyookiya, namunenya lwatu kubanga yali mukyamu.
12
Abantu abamu abaava eri Yakobo, bwe baali tebannajja, Keefa yalyanga wamu n'ab'amawanga amalala. Kyokka abantu abo bwe baatuuka, ne yeeyawula ku bali, n'abaawukanako olw'okutya abo abawagira okukomolebwa.
13
N'Abayudaaya abalala be yali nabo ne beegatta naye, mu bukuusa bwe.
14
Naye bwe nalaba nga tebagoberedde Mawulire Amalungi mu mazima, ne ŋŋamba Keefa nga tuli mu maaso gaabwe bonna, nti: “Ggwe oli Muyudaaya, naye okwata empisa z'ab'amawanga amalala ezitali za Kiyudaaya. Kale oyinza otya okuwaliriza ab'amawanga amalala okukwata empisa z'Ekiyudaaya?”
15
Ffe twazaalibwa nga tuli Bayudaaya, nga tetuli “Ba mawanga malala aboonoonyi,” nga bo bwe bayitibwa.
16
Naye tumanyi nti omuntu aba omutuukirivu lwa kukkiriza Yesu Kristo, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Naffe twakkiriza Yesu Kristo tulyoke tube abatuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga tewali n'omu ayinza kufuuka mutuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.
17
Kale kaakano bwe tufuba okuba abatuukirivu mu Kristo, ate ne tusangibwa nga naffe tuli boonoonyi, ekyo kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Nedda, tekisoboka.
18
Bwe nziramu okuzimba bye namenya, nneeraga nze nzennyini nga ndi mwonoonyi,
19
kubanga mu Mateeka, nafa, nga nzitibwa Amateeka, ndyoke mbe mulamu ku bwa Katonda. Nakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo.
20
Kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula Kristo ye mulamu mu nze. Era obulamu bwe nnina kaakano, mbulina olw'okukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala, ne yeewaayo ku lwange.
21
Sigaana kisa kya Katonda. Naye singa abantu baba batuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, olwo Kristo aba yafiira bwereere.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6