bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Song of Solomon 3
Song of Solomon 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 4 →
1
Ekiro ku kitanda kyange naloota oyo gwe njagala, nga mmunoonya ne simuzuula.
2
Namalirira nsituke ŋŋende ntambule ekibuga, mu nguudo zaakyo ne mu mpya, mmunoonyeeyo gwe njagala. Namunoonya n'ambulayo.
3
Abakuumi abalawuna ekibuga, bandaba. Olwo ne mbuuza nti: “Mulabye ku mwagalwa wange?”
4
Nali naakabayitako bwe nti, gwe njagala ne mmulaba. Ne mmunyweza ne simuta, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, mu kisenge ky'oyo anzaala.
5
Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga, wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka.
6
Oyo ani ayambuka okuva mu ddungu, ng'ali ng'empagi ey'omukka, ng'asiigiddwa ebyakawoowo ebya mirra n'omugavu, n'ebyakawoowo byonna ebyo omusuubuzi by'atunda?
7
Solomooni ye avaayo ng'asituddwa ku ntebe ye, eyeebunguluddwa abakuumi be nkaaga ab'omu batabaazi ba Yisirayeli abasingayo obuzira.
8
Bonna bakwasi ba bitala abamanyirivu mu kulwana. Buli omu yeesibye ekitala nga mwetegefu okulwana, bwe balumbibwa mu kiro.
9
Kabaka Solomooni yeekolera entebe ye ey'emiti egy'e Lebanooni.
10
Ebikondo byayo yakola bya ffeeza, ekyesigamibwako kya zaabu, ekituulibwako kya lugoye lwa kakobe olulukiddwa n'obukugu abakazi b'e Yerusaalemu.
11
Abawala b'omu Siyooni, mujje mulabe Kabaka Solomooni. Alina engule ku mutwe nnyina gy'amutikidde ku lunaku lw'embaga ye, olunaku lw'afuniddeko essanyu lye.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8