bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Song of Solomon 6
Song of Solomon 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
1
Ggwe nnalulungi mu bakazi bonna, muganzi wo alaze wa? Kkubo ki ly'akutte, tumunoonyeze wamu naawe?
2
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, omuli ebimera ebyakawoowo, okulundira eyo eggana lye n'okunogayo ku malanga.
3
Muganzi wange, ye wange, nange nze wuwe. Alundira eggana lye mu malanga.
4
Oli mulungi, ayi muganzi wange, ng'Ekibuga Tiruza; onyirira nga Yerusaalemu. Otiisa ng'eggye eritaze okulwana!
5
Tontunuulira, kubanga amaaso go gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, erikkirira olusozi Gileyaadi.
6
Amannyo go meeru. Gatukula ng'eggana ly'endiga enkazi ezambuka nga ziva okunaazibwa. Tezitambula kinneemu: buli emu eba ne ginnaayo.
7
Amatama go mu katimba k'ogabisseeko, galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri.
8
Ka wabeewo abakyala abeekitiibwa nkaaga, n'abazaana kinaana, era n'abawala abaweereza butabala;
9
naye muganzi wange ataliiko kamogo, ali omu. Ye muwala yekka nnyina gwe yazaala. Mu baana be, ye gw'ayagala ennyo. Abawala abamutunulako bonna bamutenda omukisa. Abakyala abeekitiibwa wamu n'abazaana, bonna bamutendereza.
10
Ono ye ani asala nga mmambya, omulungi ng'omwezi, atemagana ng'enjuba evaayo, atiisa ng'eggye eritaze okulwana?
11
Naserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, ndabe ebimera ebikulira mu kiwonvu, ndabe n'emizabbibu oba nga gimulisizza, n'emikomamawanga oba nga gyanyizza.
12
Okugenda okwejjuukiriza nga mu birowoozo byange, ntudde mu bigaali okumpi ne kabiite wange!
13
Komawo, komawo omuwala w'e Sulamu! Komawo, komawo tukulabe! Munsimbira ki amaaso, ng'omugole ayita mu nnyiriri z'abatunuulizi?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8