bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Song of Solomon 8
Song of Solomon 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
1
Ha, singa nno wali mwannyinaze eyayonka ku mabeere ga mmange! Twandisisinkanye ebweru ne nkugwa mu kifuba, ne watabaawo ansunga.
2
Nandikututte ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, n'onjigiririza eyo okwagala. Nandikuwadde ku mwenge omuwoomu n'onywako, ne ku mubisi omusogole mu makomamawanga.
3
Omukono gwo ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, omukono gwo ogwa ddyo gumpambaatidde.
4
Mbalayiza mmwe abawala b'e Yerusaalemu: temugolokosanga wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka.
5
Ono ani ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nazuukusa okwagala kwo wansi w'omucungwa, mu kifo mwe wazaalirwa, nnyoko mwe yalumirwa ng'akuzaala.
6
Siba omutima gwo oyagale nze nzekka; emikono gyo gireme kuwambaatira mulala wabula nze nzekka, kubanga okwagala kwenkanya okufa amaanyi. Obuggya bukambwe, okwenkana amagombe. Okwagala kukoleera ne kwaka ng'omuliro, ogulina ennimi ezeememula!
7
Omujjuzo gw'amazzi wadde engezi, tebiyinza kuzikiza kwagala. Oyo awaayo obugagga bwonna bw'aba nabwo mu nnyumba agule okwagala, afuna kunyoomebwa kwokka.
8
Mwannyinaffe muto tannamera bbeere! Tunaamukolera ki bwe wajja amwogereza?
9
Mwannyinaffe oyo bw'anaaba ekisenge, tunaamuzimbako omunaala ogwa ffeeza; bw'anaaba oluggi, tunaamusiba n'emikiikiro egy'omuvule.
10
Ndi kisenge, amabeere gange gye minaala gyakwo. Bwe mba ne muganzi wange mmatira, mba mirembe.
11
Solomooni yalina ennimiro ey'emizabbibu e Baali Hammoni, abalimi ne bagipangisa, buli omu ng'asasula sekeli lukumi eza ffeeza.
12
Solomooni k'afunenga sekeli ze olukumi eza ffeeza, n'abapangisa bafunengamu ebikumi ebibiri, naye ennimiro eyange, nze njeerabiririra nzekka!
13
Ggwe abeera eyo mu nnimiro, bannange balindiridde okuwulira ku ddoboozi lyo. Kale yogera ndiwulireko.
14
Jjangu gye ndi, ayi muganzi wange, ng'oyanguwa ng'empeewo oba ng'ennangaazi ento, ku nsozi awakula ebyakawoowo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8