bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Song of Solomon 5
Song of Solomon 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
1
Ayi muganzi wange era mugole wange, nzize mu nnimiro yange. Nnoze mirra n'ebyakawoowo byange, ndidde ku mubisi gw'enjuki, ne ku bisasala byazo. Nnywedde omwenge gwange, n'amata gange. Mulye, mmwe abaagalana, munywe; munywe mukkute omukwano!
2
Nali neebase, sso nga ntunula, ne mpulira muganzi wange ng'akonkona ku luggi, ng'agamba nti: “Nziguliraawo, muganzi wange, kabiite, omulungi wange, ataliiko kamogo! Omutwe gwange gutobye omusulo, enviiri zange zijjudde ssuulwe.”
3
Nga nneeyambudde dda nze! Nziremu ate nnyambale? Nanaabye dda ebigere! Nziremu ate mbiddugaze?
4
Muganzi wange n'ayisa omukono mu kituli mu luggi, nzenna ne mbugaana essanyu, kubanga ali awo.
5
Ne ngolokoka okumuggulirawo, ebibatu byange n'engalo zange nga bitobye omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, ne gukulukutira ku kisiba oluggi.
6
Ne nzigulirawo muganzi wange, kyokka nga yabuzeewo dda! Ne njagala mpulire bw'ayogera, ne mmunoonya, nga sikyamulaba! Ne mmuyita, nga tanziramu.
7
Abakuumi ne bansanga nga balawuna ekibuga, ne bankuba, ne banteekako ebiwundu. Abakuumi b'ekibuga abo, ne bannyagako omunagiro gwange!
8
Mbalayiza mmwe abawala b'omu Yerusaalemu, bwe mulaba muganzi wange, mumugamba nti okwagala nze kunzita, kummalawo!
9
Ggwe nnalulungi, mu bakazi bonna, kiki ekyawula muganzi wo ku bantu abalala? Kiki ky'alina ekyenjawulo olyoke otulayize bw'otyo?
10
Muganzi wange mulungi era wa maanyi. Ali omu yekka mu bantu omutwalo!
11
Omutwe gwe guli nga zaabu omulungi ennyo nnyini. Enviiri ze za mayengo, nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12
Amaaso ge gali ng'enjiibwa eziri ku mabbali g'obugga obukulukuta amazzi, nga ziri ng'ezinaaziddwa mu mata, ziri awo ziwummudde.
13
Amatama ge gali ng'ennimiro omuli ebimera ebyobuwoowo, n'ebirungo by'enva ebyakaloosa. Emimwa gye giri ng'amalanga agatonnyolokokako eky'akawoowo ekiyitibwa mirra.
14
Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziwundiddwamu amayinja ga berulo. Omubiri gwe guli ng'ogwakolebwa mu ssanga eriwundiddwamu amayinja ga safiro.
15
Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amayooyoote, ezisimbiddwa mu binnya ebya zaabu omulungi ennyo. Waakitiibwa ng'ensozi z'e Lebanooni, okuli emivule emiwagguufu.
16
Emboozi ye mpoomerevu, na buli ekimuliko kinsanyusa. Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, bw'atyo bw'ali muganzi wange, ye wuuyo mukwano gwange.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8