bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ephesians 2
Ephesians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Nammwe mwali bafu olw'ebyonoono n'ebibi byammwe
2
bye mwatambulirangamu luli nga mukyagoberera empisa y'ensi eno, nga mukyatwalibwa omukungu alina obuyinza obw'omu nsi eno, omwoyo ogwo ogukyakola na buli kati mu bajeemu.
3
Naffe ffenna edda twalinga kimu nabo, nga tutwalibwa amaddu g'omubiri gwaffe, nga tukola ebyo emibiri n'emitima gyaffe bye gyegomba; mu buzaale, nga tuli zzadde eryasunguwalirwa nga bwe kyali ku balala bonna.
4
Naye nno Katonda omugagga mu kusaasira, olw'okwagala kwe okunene kwe yatwagalamu,
5
ne bwe twali tukyali bafu olw'ebibi byaffe, yatuzzaamu obulamu wamu ne Kristu – eneema ye ye yabalokola, -
6
naffe n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu naye mu ggulu mu Kristu Yezu,
7
alyoke mu mirembe egirijja ayoleke obugagga bw'eneema ye obusukkirivu ng'atugirira ekisa mu Kristu Yezu.
8
Anti eneema ye yabalokola mu kukkiriza, tekyava ku mmwe, kino kirabo kya Katonda.
9
Tekyava mu bikolwa byammwe; waleme kubaawo nno yeetenda.
10
Tuli mulimu gwe, yatutonda mu Kristu Yezu tukole ebikolwa ebirungi Katonda bye yatutegekera edda, mwe tuba tutambulira.
11
Awo no mujjukire ng'olumu mwali b'amawanga mu buzaale obw'omubiri, nga muyitibwa abatali batayirire abo abatayirire ab'okutayirirwa okwali okw'omubiri nga kukoleddwa bantu,
12
nti olwo mwali temulina Kristu, nga muli bweru wa kibiina kya Yisirayeli, nga muli bagwira eri endagaano z'ekisuubizo, nga temulina ssuubi mu mmwe, nga temulina Katonda mu nsi.
13
Sso kati mu Kristu Yezu, mmwe luli abaali beesuubye, mwasembezebwa kumpi olw'omusaayi gwa Kristu.
14
Anti ye lye ddembe lyaffe; ffembi atufudde omuntu omu, ng'ayita mu mubiri gwe n'amenyawo ekisenge eky'obulabe ekyatwawulangamu.
15
Yaggyawo Etteeka n'ebiragiro byalyo n'empisa zaalyo alyoke atondewo mu ye omuntu omuggya awabadde ababiri, n'azzaawo bw'atyo eddembe,
16
ffembi atutabaganye ne Katonda mu mubiri gumu nga yeeyamba omusaalaba, akomye bw'atyo obulabe obwaliwo.
17
Yajja n'ayigiriza eddembe mwe abaali beesuubye na bali abaali okumpi;
18
kati ffembi ng'ayita mu ye mu Mwoyo omu tusobola okutuuka ku Taata.
19
Awo nno, temukyali bagwira oba basuze busuze, naye muli bannansi wamu n'abatuukirivu n'ab'omu maka ga Katonda.
20
Mwazimbirwa ku mwaliiro gw'Abatume n'abalanzi; Kristu Yezu yennyini nga lye jjinja ery'entabiro.
21
Mu ye ekizimbe kyonna mwe kyegattira, ne kikula, ne kifuuka Ekiggwa ekitukuvu mu Mukama.
22
Mu ye nammwe mwe mwazimbirwa, ne mufuuka ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6