bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ephesians 3
Ephesians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Nze Pawulo omusibe wa Kristu Yezu, kyenva neegayirira ku lwammwe ab'amawanga.
2
Nsuubira nti temwalema kuwulirako nga bwe nakwasibwa ku lwammwe omulimu ogw'eneema ya Katonda,
3
ng'ekyama kye mbawandiikiddeko mu bikulembedde bwe kyambikkulirwa.
4
Bwe mubisoma musobola okulaba nga bwe nategeera ekyama kya Kristu,
5
ekitaamanyisibwa bantu mu mirembe giri nga Mwoyo bw'akimanyisizza kaakano Abatume be abatukuvu n'abalanzi,
6
nti n'abamawanga nabo bafuuse basika wamu naffe, nabo bitundu bya mubiri, abagabana ku bisuubizo mu Kristu Yezu olw'Evangili.
7
Eyo ye Vangili gye natumibwa okuweereza olw'ekirabo ky'eneema ya Katonda ekyampeebwa nga kiva mu kukola kw'amaanyi ge.
8
Nange, nze asemba mu batuukirivu bonna, eneema eno yampeebwa, ab'amawanga okubabuulira obugagga bwa Kristu obuteefumiitirizika,
9
n'okumanyisa abantu bonna ekyama kino nga bwe kigenda kikola. Kyali kikwekeddwa okuva ddi mu Katonda eyatonda byonna,
10
kati amagezi ga Katonda ag'engeri ennyingi galyoke gamanyisibwe abafuzi n'ab'obuyinza mu ggulu nga kino kiyita mu Ekleziya.
11
Kino yakikola ng'agoberera enteesa ye ey'emirembe gyonna gye yatuukiriza mu Kristu Yezu Mukama waffe,
12
omutuviira okuguma, ne tumusemberera nga tetutya olw'okumukkiriza.
13
Kale nno mbeegayiridde muleke kuterebuka olw'ennaku ze nnimu ku lwammwe; kye kitiibwa kyammwe.
14
Kyenva nno nfukamira mu maaso ga Taata,
15
oyo buli buzadde mu ggulu ne mu nsi kwe buggya erinnya,
16
ng'ayima ku bugagga bw'ekitiibwa kye, abawe ng'ayita mu Mwoyo we mweyongere munda yammwe amaanyi n'obuvumu,
17
ne Kristu abeere mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; emirandira nga mugisimbye mu kwagala era nga kwe muzimbiddwa,
18
musobole okufuna amaanyi awamu n'abatuukirivu bonna okutegeera obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n'okukka wansi,
19
mumanye n'okwagala kwa Kristu, okusukkiridde amagezi gonna, mulyoke mujjulire ddala mwenna Katonda mu bujjuvu bwe.
20
Oyo, ng'ayita mu buyinza obukolera mu ffe, akola n'ayitiriza n'okuyitiriza ku kye tuba tusabye oba tulowooza,
21
oyo aweebwe ekitiibwa mu Ekleziya ne mu Kristu Yezu mu mazadde gonna emirembe n'emirembe. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6