bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ephesians 4
Ephesians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Kale nno nze omusibe w'Omukama mbeegayiridde, muyise mu ngeri esaanira okuyitibwa kwe mwayitirwa,
2
n'obwetoowaze bwonna, n'obuteefu, n'obugumiikiriza, nga mulekeragana olw'okwagalana.
3
Mwefubirire okunyweza okussa ekimu okwa Mwoyo mu ddembe eribasiba awamu.
4
Omubiri guli gumu ne Mwoyo omu nga bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;
5
Omukama omu, okukkiriza kumu, Batismu emu,
6
Katonda omu era Kitaawe wa bonna, assukkulumye byonna, akolera mu byonna, ali mu byonna.
7
Sso buli omu mu ffe yafuna eneema okusinziira nga Kristu bwe yagereka ebirabo bye.
8
Kyebava bagamba nti: “Bwe yalinnya waggulu, yatwala eggye ly'abasibe, n'awa abantu ebirabo.”
9
Bwe bagamba nti: “Yalinnya,” baba ate bategeeza ki ekirala, wabula nti yakka wansi ekkuzimu mu ttaka.
10
Oyo eyakka ye omu eyayambuka n'atumbiira n'okuyisa eggulu lyonna alyoke ajjuze byonna.
11
Yawa abamu okuba Abatume, abalala ne baba balanzi, abandi bayigiriza ba Vangili, abalala basumba n'abayigisa,
12
olw'okutereeza obulamu bw'abatuukirivu basobole okukola omulimu gw'okuweereza n'okuzimba Omubiri gwa Kristu,
13
okutuusa ffenna awamu lwe tulifuuka omu mu kukkiriza ne mu kumanya Omwana wa Katonda, tutuuke ku kubeera omuntu omu atuukiridde, ne ku kwenkanankana Kristu mu bujjuvu bw'obukulu bwe;
14
tuleme kubeera baana bato abeekubiira eno n'eri, abayuuyizibwa buli muyaga gwa njigiriza, n'abantu abakwenyakwenya n'obukodyo bwabwe obuwubisa.
15
Naye mu kwogera amazima mu kwagala tujja kugenda nga tukula mu buli ngeri nga tufuukamu oyo omutwe gwaffe, Kristu;
16
mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa awamu ne gweyunga bulungi mu buli nnyingo eziguliisa, ate buli kitundu bwe kiba nga kikola bulungi, ne zigukuza, ne ziguwa zityo okugenda nga gwezimba mu kwagala.
17
Kale nno mbagamba, era ndayidde n'Omukama, temwongera kuyisa ng'ab'amawanga bwe bayisa mu ndowooza yaabwe etayamba.
18
Bakutte enzikiza mu ntegeera yaabwe; beesuubye obulamu bwa Katonda olw'obutamanya obubalimu, kubanga baagugubya emitima gyabwe.
19
Bafuuse bakakanyavu, bagwenyuse, balulunkanira buli ngeri ya bugwagwa.
20
Naye mmwe Kristu si bwe mwamuyiga mutyo.
21
Ndowooza nga mwamuwulirako era nga mwamuyigirizibwako, ng'amazima bwe gali mu Kristu.
22
Mweyambule nno omuntu omukadde ow'enneeyisa ey'edda, eyali ayonoonese olw'okugoberera amaddu agaamukwenyakwenyanga,
23
mudde buggya munda mu mutima gwammwe.
24
Mwambale omuntu omuggya eyatondebwa mu nfaanana ya Katonda mu butuufu ne mu butuukirivu obw'amazima.
25
Awo nno mulekere awo okulimbagana, buli omu abuulire munne amazima, anti tuli buli omu bitundu bya munne.
26
Musunguwale, kyokka temukola ekibi; temusuulanga njuba nga mukyasibye obusungu,
27
bwe mutyo ne mutawa Sitaani kyekwaso.
28
Abadde abba, alekere awo; wabula akabassane ng'akola emirimu emirungi n'emikono gye, afune bw'atyo kw'aggya okuyamba eyeetaaga.
29
Ebigambo ebibi tebifulumanga mu kamwa kammwe, wabula ebyo ebirungi, ebizimba, ebigwanira we bijjira, ebiyamba oyo abiwulira.
30
Temunakuwazanga Mwoyo Mutuukirivu wa Katonda nnyini kabonero akaabalambibwako olw'okubeera olunaku olw'okununulibwa.
31
Mu mmwe mubuliremu ddala akadubudubu, ennyiike, obusungu, okukaalaama, okuvuma, na buli ttima lyonna.
32
Buli omu abeere wa kisa eri munne, musaasiragane, musonyiwagane nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6