bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ephesians 6
Ephesians 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Mmwe abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama; kubanga kino kituufu.
2
“Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa,” kye kiragiro ekisooka okubaako ekisuubizo:
3
“Lw'onooba obulungi n'owangaala ku nsi.”
4
Nammwe abazadde mulekenga kunyiiza baana bammwe, naye mubagunjulenga mu mpisa ennungi ne mu bibuuliriro by'Omukama.
5
Mmwe abaddu, nga bwe muwulira Kristu, bwe muba muwuliranga ne bakama bammwe ab'oku nsi, mu kutya ne mu kukankana, nga temussaamu kantu;
6
si lwa kulabibwa kyokka, kyenkana ng'abanoonya okutendebwa abantu, wabula nga bwe muli baweereza ba Kristu, mukole Katonda ky'ayagala n'omutima gwonna.
7
Muweerezenga nga mwagala ng'abaweereza Omukama, sso si abantu obuntu,
8
nga mumanyi nti buli omu, oba muddu oba si muddu, buli ky'aliba akoze empeera yaakyo aligifuna okuva ew'Omukama.
9
Nammwe bakama baabwe, abaweereza mubayisenga mu ngeri ye emu; muleke kubawerera, nga mumanyi nti Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu era ye taliimu kusosola.
10
Ekisembayo, mubeerenga ba maanyi mu Mukama n'obuyinza bw'amaanyi ge.
11
Mwambalenga mubune ebyokulwanyisa ebya Katonda, musobole okuziyiza obukodyo bwa Sitaani.
12
Kubanga tetulwanyisa mubiri na musaayi, naye tulwanyisa abakungu n'ab'obuyinza, tulwanyisa abafuga ensi ey'enzikiza eno, tulwanyisa emyoyo emibi egy'eyo waggulu.
13
Kale nno mukwatenga ebyokulwanyisa bya Katonda, lwe munaasobola okutala ku lunaku olw'akabi, nga mumaze okukola kyonna ekisoboka, musigale nga muli banywevu.
14
Muyimirirenga nno, nga mwesibye ebimyu, ge mazima, nga mwambadde n'ekizibawo eky'ekyuma, bwe butuukirivu,
15
nga munaanise n'engatto mu bigere okwetegekera okulangirira Evangili ey'eddembe.
16
Okusinga byonna, nga mukutte engabo, kwe kukkiriza, gye muneeyamba okuzikiza obusaale bw'omubi obwengeredde ng'omuliro.
17
Mukwate n'enkufiira eŋŋumu ey'obulokofu, n'ekitala ekya Mwoyo, kye kigambo kya Katonda.
18
Mwegayirirenga ebbanga lyonna mu Mwoyo, nga muweereza essaala n'okuwanjaga. Olwa kino temukoowa kutunula nga musabira abatuukirivu,
19
nange nga munsabira nfune ebigambo, njasamye akamwa kange n'obuvumu okumanyisa ekyama ky'Evangili
20
gye natumirwa eno mu nvuba ng'omubaka, ngirangirire nga bwe nteekeddwa okwogera.
21
Nammwe okumanya bwe ndi ne bye nkola, ebyo byonna Tukiko owooluganda omwagalwa, omuweereza omwesigwa mu Mukama, anaabibabuulira.
22
Mmubasindikidde lwa nsonga eno, mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima.
23
Eddembe, okwagala n'okukkiriza okuva ewa Katonda Taata n'Omukama Yezu Kristu bibeere n'abooluganda.
24
Eneema ebeere n'abo bonna abaagala Omukama Yezu Kristu n'okwagala okutagooka.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6