bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ephesians 5
Ephesians 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Nga bwe muli abaana ba Katonda abaagalwa, mumufaanane.
2
Mutambulire mu kwagala nga mulabira ku Kristu nga bwe yatwagala ne yeewaayo okubeera ffe ng'ekitambiro kye yatambirira Katonda ekiwunya akawoowo ak'akaloosa.
3
Nga bwe kigwanira abatuukirivu, mu mmwe temumenyerwangamu bwenzi, buseegu n'okululunkanira ebintu.
4
Eby'ensonyi, okunyumya eby'obusiru, n'okubalaata, ebyo tebibagwanidde, wabula mu mmwe mubeeremu kwebaza.
5
Kino mukitegeere nti teri museegu yenna, oba mugwagwa, oba alulunkanira ebintu, kwe kugamba nti oyo asinza balubaale, alina busika mu bwakabaka bwa Kristu n'obwa Katonda.
6
Tebabaguyanga n'ebigambo ebitaliimu; ebintu ng'ebyo bye bireetera Katonda okusunguwalira abajeemu.
7
Muleke nno kwetaba nabo.
8
Anti edda luli mwali nzikiza nsa, sso kati muli kitangaala mu Mukama; muyise nno ng'abaana b'ekitangaala.
9
Anti ebibala by'ekitangaala birabikira mu bulungi bwonna, n'obutuufu, n'amazima.
10
Mufube okumanya ekisanyusa Omukama.
11
Ebikolwa eby'omu nzikiza ebyo omutali mugaso muleme kubyetabikamu; wabula ate mubyatuukirize bwatuukiriza.
12
Mazima bye bakola eyo mu nkiso bikwasa n'ensonyi okwogera.
13
Buli kyonna ekitangaala kye kikubako kyerulibwa, buli kyeruddwa kifuuka kitangaala.
14
Kyebava bagamba nti: “Zuukuka, ggwe eyeebase, zuukira mu bafu, Kristu ajja kukumulisa.”
15
Kale nno, abooluganda, mwegendereze engeri gye mutambulamu, si ng'abasiru, wabula ng'abagezi
16
abamanyi okuggya omugaso mu budde buno, anti obudde bwe tulimu bubi.
17
Kale nno temuba basiru, wabula mutegeere Omukama ky'ayagala.
18
Muleke na kutamiira mwenge, kubanga obwo busaasaanyi, wabula mujjule Mwoyo Mutuukirivu.
19
Mwogeraganyenga mu zabbuli, amatendo n'ennyimba entukuvu, nga muyimba, nga mutendereza Omukama n'omutima gwammwe gwonna,
20
Katonda Taata nga mumwebaza byonna bulijjo na buli wantu mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu.
21
Buli omu agonderenga munne mu kutya Kristu.
22
Abakazi mugonderenga babbammwe nga bwe mugondera Omukama.
23
Kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi nga Kristu bw'ali omutwe gw'Ekleziya, omubiri gwe era yennyini Omulokozi waagwo.
24
Era ng'Ekleziya bw'agondera Kristu, n'abakazi bwe batyo bagonderenga babbaabwe mu byonna.
25
Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristu bwe yayagala Ekleziya ne yeewaayo okubeera ye,
26
alyoke amutukuze ng'amulongoosa mu kunaazibwa mu mazzi n'ekigambo,
27
alyoke mu kitiibwa yessizzeewo mu maaso ge Ekleziya ataliiko musango na lukanyanya newandibadde akantu akalala ak'engeri eyo, alyoke abeere mutukuvu nga taliiko kasobye.
28
N'abasajja bwe balagirwa okwagalanga bwe batyo bakazi baabwe kyenkana ng'emibiri gyabwe gyennyini. Anti ayagala mukazi we nga yeeyagadde yennyini.
29
Kubanga tewabanga akyawa mubiri gwe, naye aguliisa, n'agulabirira, nga Kristu bw'alyowa Ekleziya,
30
Kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31
Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ku mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu.
32
Ekyama kino kikulu, nze mu kyo ntegeezaamu Kristu n'Ekleziya.
33
Kale buli muntu mu mmwe ayagalenga mukazi we nga ye bwe yeeyagala yennyini, n'omukazi atyenga bba.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6