bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 1
Galatians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Pawulo, eyayitibwa okuba Omutume si bantu oba nga kiva mu muntu buntu, wabula mu Yezu Kristu ne Katonda Taata eyamuzuukiza mu bafu,
2
era n'abooluganda bonna bwe tuli.
3
Ya Ekleziya z'e Galasiya: Eneema ebeere nammwe, ko n'emirembe okuva ewa Katonda Taata ne Mukama waffe Yezu Kristu,
4
eyeewaayo okubeera ebibi byaffe okutuwonya emirembe gino emibi, nga Katonda era Taata bwe yayagala;
5
oyo agulumizibwe emirembe n'emirembe Amiina.
6
Neewuunyizza okulaba nga mwabulidde mangu mutyo oli eyabayita mu neema ya Kristu, ate ne mudda eri evangili endala;
7
si kwe kugamba nti waliyo evangili endala, wabula waliwo abamu ababatabula, abaagala okwonoona Evangili ya Kristu.
8
Ne bwe yandibadde ffe oba malayika avudde mu ggulu, singa abayigiriza evangili endala eyawukanye ku eyo gye twabayigiriza, avumirirwe.
9
Nga bwe twagamba olulala, era bwe nziramu okugamba, nti oba waliwo abayigiriza evangili eyawukanye ku eyo gye mwafuna, avumirirwe.
10
Kati nkolerera kusiimibwa bantu, oba Katonda? Nnoonya kusanyusa bantu? Oba nkyayagala kusanyusa bantu, sandibadde muweereza wa Kristu.
11
Ka mbabuulire, abooluganda, Evangili gye nabayigiriza, si ya muntu.
12
Saagifuna kuva ku muntu; saayigirizibwa buyigirizibwa, wabula yava mu Yezu Kristu bye yambikkulira.
13
Anti mwawulira edda bwe neeyisanga nga ndi mu Kiyudaaya; nga bwe nayigganya Ekleziya wa Katonda ne mpitiriza, ne ngezaako okumuzikiriza.
14
Neeyongera okukuguka mu Kiyudaaya ne nkubira wala bannange ab'eggwanga lyange bwe twaliwo mu budde obwo, nga ndi muyitirivu mu kutakabanira empisa za bajjajjange.
15
Naye nno oyo eyanjawula okuva mu nda ya nnyabo, n'ampita n'eneema ye, bwe yasiima
16
okunjoleka Omwana we ndyoke mmuyigirize ab'amawanga, seeyuna muntu,
17
era n'e Yeruzaalemu saayambukayo eri abo abansooka okuba abatume; nagenda bugenzi mu Arabiya, ate ne nkomawo e Damasiko.
18
Oluvannyuma nga wayise emyaka esatu, kwe kwambuka e Yeruzaalemu okulaba Kefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.
19
Mu batume saalabayo mulala, mpozzi Yakobo muganda w'Omukama.
20
Ndayira mu maaso ga Katonda nga bye mpandiika bino sirimba.
21
Oluvannyuma ne ŋŋenda mu nsi ya Siriya ne mu Silisiya.
22
Ekleziya za Kristu ez'omu Buyudaaya zaali tezimmanyi bwe nfaanana.
23
Baali bawuliddeko buwulizi nti: “Olumu eyali atuyigganya, ate kati y'ayigiriza okukkiriza kwe yali ayagala okuzikiriza;”
24
ne bagulumiza Katonda olw'okubeera nze.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6