bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 3
Galatians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Basiru mmwe Abagalasiya, ani abagulise, mmwe mu maaso gammwe Yezu omukomerere ku musaalaba be yalagibwa?
2
Kale mbabuuza kino kyokka: Mwoyo mwamufuna kubanga mwatuusa ebikolwa by'omu Tteeka, nandiki kubanga mwawulira n'okukkiriza?
3
Bwe mutyo bwemusiriwadde? Mmwe abaatandika ne Mwoyo ate mumaliriza na mubiri?
4
Byonna ebyo bye mwabonaabonamu byali bya busa? - singa ddala byali bya busa.
5
Eyabawa Mwoyo we era akola n'ebyewuunyo mu mmwe akozesa bikolwa bya mu Tteeka, oba kubanga mwawulira n'okukkiriza?
6
“Yiburayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa ng'obutuukirivu.”
7
Awo nno mulaba nti abakkiriza be baba abaana ba Yiburayimu.
8
Ekiwandiiko ekitukuvu bwe kyalengera nga Katonda amawanga aligafuula matuukirivu lwa kukkiriza, ne kibuulirirawo Yiburayimu amawulire ag'essanyu nti: “Mu ggwe amawanga gonna galiweebwa omukisa.”
9
Abakkiriza nno ba mukisa wamu ne Yiburayimu eyakkiriza.
10
Awo nno bonna abagendera ku bikolwa eby'Etteeka bakolimire; anti kyawandiikibwa nti: “Buli yenna atanyweza byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka n'atabituusa, mukolimire.”
11
Awo nno Etteeka terisobola kufuula muntu mutuukirivu mu maaso ga Katonda, kubanga “Omutuukirivu aliba mulamu olw'okukkiriza.”
12
Etteeka lyo teryesigamye ku kukkiriza, kubanga “Aliba abikoze, aliba mulamu olw'okubeera byo.”
13
Kristu yatununula mu kikolimo ky'Etteeka bwe yafuuka ekikolimo olw'okubeera ffe, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli yenna awanikibwa ku muti, mukolimire.”
14
Kristu Yezu yatununula, mu ye omukisa gwa Yiburayimu gujje ku b'amawanga, naffe olw'okukkiriza tufune Mwoyo eyasuubizibwa.
15
Abooluganda, singa tulabira ku bibaawo bulijjo, endagaano y'omuntu bw'emala okukakasibwa, tewali muntu asobola kugisazaamu oba kugiwaayiramu birala.
16
Ebisuubizo byasuubizibwa Yiburayimu n'ezzadde lye. Tagamba nti: “N'amazadde ge,” ng'amangi; naye mu bumu nti: “N'ezzadde lyo;” ezzadde eryo ye Kristu.
17
Kino nze kye ntegeeza, nti Etteeka eryajja nga wamaze okuyita emyaka ebikumi bina mu asatu teriyinza kudibya ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, bye yasuubiza ne bifa busa.
18
Oba obusika bugoba biri mu Tteeka, awo nno tebugoba kisuubizo; sso Katonda yabuwa Yiburayimu ng'agoba ebiri mu kisuubizo.
19
Etteeka nno lyaki? Lyagattibwako olw'ebisobyo okutuusa ezzadde eryasuubizibwa ekisuubizo lwe lirijja. Lyateekebwateekebwa bamalayika nga bayita mu mutabaganya.
20
Omutabaganya tatabaganya omu, sso Katonda ali omu.
21
Awo nno Etteeka liggyawo Katonda bye yasuubiza? N'akatono. Singa wassibwawo Etteeka erisobola okuwa obulamu, ggwe wamma obutuukirivu bwandivuddenga mu Tteeka.
22
Sso Ekiwandiiko ekitukuvu byonna kyabissa mu buyinza bwa kibi, olw'okukkiriza Yezu Kristu ekisuubizo kiryoke kibeere ky'abo abakkiriza.
23
Kati nno okukkiriza kwali tekunnajja, ffenna twali tussiddwa mu kkomera ly'Etteeka, nga tukuumirwa mu nkomyo okutuusa akadde okukkiriza lwe kulibikkulibwa.
24
Awo nno Etteeka lyatukuumira mu ggunjuliro okutuusa ku Kristu, tulyoke tufuulibwe abatuukirivu olw'okukkiriza.
25
Naye kati okukkiriza nga kumaze okutuuka, tetukyafugibwa mukuumi,
26
Kubanga mwenna olw'okukkiriza, muli baana ba Katonda mu Kristu Yezu.
27
Anti mwenna nga bwe mwabatizibwa mu Yezu Kristu, mwambadde Kristu.
28
Tewakyali ono Muyudaaya, ono Mugereeki; tewakyali ono muddu, ono mwana wa ddembe; tewakyali ono musajja, ono mukazi; anti mmwe mwenna muli muntu omu mu Kristu Yezu.
29
Oba muli ba Kristu, awo nno muli zzadde lya Yiburayimu, muli basika okusinziira ku kisuubizo.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6