bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 5
Galatians 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Kristu yatusumulula tulyoke tubeere mu ddembe; awo nno munywere, muleme kwezza ate mu kikoligo kya buddu.
2
Nze Pawulo mwene nze mbagamba, nti oba mutayirirwa, Kristu tajja kubagasa kantu.
3
Nziramu okukakasa buli muntu eyeewaayo okutayirirwa, nti oyo abanjibwa okukwata Etteeka lyonna.
4
Mmwe abaagala okufuulibwa abatuukirivu olw'Etteeka, mukutuddwa ku Kristu; mukongose ku neema.
5
Sso ffe mu Mwoyo ku lw'okukkiriza, tulinda ebyo obutuukirivu bye busuubiza.
6
Anti mu Kristu Yezu okutayirirwa n'obutatayirirwa byombi tebirina makulu, wabula okukkiriza okweyolekera mu kwagala.
7
Mwali mudduse bulungi, ate ani oyo abaziyiza okugondera amazima?
8
Okubaseemyaseemya kuno si kw'oyo eyabayita.
9
Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa obutta bwonna.
10
Neesiga Mukama nga temujja kugoberera ndowooza ndala; oyo abatabula, ne bw'anaaba ani, gulimusinga.
11
Kale nno, abooluganda, oba nze nkyayigiriza okutayirirwa, lwaki bakyanjigganya? Bwe guba gutyo, n'ekyesittazo ky'omusaalaba kiggiddwawo.
12
Nandyagadde abo ababatabangula beesonjolereko ddala!
13
Abooluganda, mmwe mwayitirwa ddembe; kyokka eddembe eryo temulyeyambisa kukola bya mubiri, naye buli omu abeere muweereza wa munne mu kwagala.
14
Anti Etteeka lyonna lifunzibwa mu kigambo kimu: “Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
15
Oba mulumagana, mulyaŋŋana mutyo, mwekkaanye sikulwa nga mumalaŋŋanawo.
16
Kyenva ŋŋamba nti: mutambulire mu Mwoyo, olwo lwe mutaakole mubiri bye gwegomba.
17
Anti omubiri bye gwegomba bikontana n'eby'omwoyo bye gwegomba; n'omwoyo bye gwegomba bikontana n'eby'omubiri bye gwegomba. Byombi, ekimu kirwanyisa kinaakyo, ne mutakola kye mwandyagadde kukikola.
18
Bwe muba nga mutwalibwa Mwoyo, olwo temufugibwa Tteeka.
19
Anti ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa: obuseegu, obwenzi, obugwenyufu,
20
okuwongera balubaale, okuloga, akaluyi, okuyomba, ebbuba, obusungu, obukodo, endasano, obutakkaanya,
21
obuggya, obutemu, obutamiivu, ebiduula n'ebirala ebiringa ebyo. Mbalabula, era nga bwe nabalabula olulala, ebyo ababikola tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
22
Kyo ekibala kya Mwoyo kibeera: kwagala, ssanyu, ddembe, kugumiikiriza, kisa, bulungi, bwesigwa,
23
buteefu, bwetangize. Ebyo tebiriiko tteeka libiwakanya.
24
Abo abeewa Kristu Yezu, omubiri gwabwe bagukomerera ku musaalaba ko n'amaddu gaagwo ne bye gwegomba.
25
Oba nno tuli balamu lwa Mwoyo, tutambulire mu Mwoyo.
26
Tuleke kwegomba kitiibwa kitaliimu n'okusosonkerezagana, n'okukwatiragana obuggya.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6