bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 6
Galatians 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Abooluganda, ng'omuntu akwatiddwa n'agwa mu nsobi, mmwe aba Mwoyo mumugolole n'eggonjebwa. Nammwe mwegendereze muleme kukemebwa.
2
Buli omu asitulireko munne omugugu, bwe mutyo mutuukirize etteeka lya Kristu.
3
Kubanga oli bw'alowooza ng'aliko bw'ali sso nga taliiko bw'ali, oyo yeerimba.
4
Buli omu yeekebere alabe nga bw'akola, olwo aneepima n'alaba ekimwewaanya, naye n'ateegeranya ku mulala.
5
Anti buli omu obuzito alyetikka bubwe.
6
Oyo asomesebwa ekigambo agabane byonna ebirungi by'alina n'oli asomesa.
7
Muleke kuwubisibwa, Katonda teri ayinza kumukwenyakwenya, kubanga omuntu ky'aliba asize era ky'alikungula.
8
Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri gwe era mw'alikungula olumbe; asiga mu Mwoyo, mu Mwoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo.
9
Tuleme kukoowa kukola bulungi, kubanga bwe tutaddirira, tujja kukungula ng'obudde butuuse.
10
Kale nno ebbanga nga bwe tukyalirina, tukolere bulungi abantu bonna, naddala abo ab'omu maka g'okukkiriza.
11
Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnyukuta ennene.
12
Bonna abo abaagala okweraga mu by'omubiri, be bo ababawaliriza okutayirirwa, baleme kuyigganyizibwa lwa musaalaba gwa Kristu.
13
Sso n'abo abaatayirirwa Etteeka tebalikwata, naye baagala mmwe mutayirirwe, balyoke beetendere mu kituuse ku mibiri gyammwe.
14
Kikafuuwe nze okwetenda, wabula beppo mu musaalaba gwa Mukama waffe Yezu Kristu; mu gwo ensi ekomereddwa ku nze, nange nga nkomereddwa ku yo.
15
Okutayirirwa tekulina makulu, n'obutatayirirwa nabwo bwe butyo; ekikulu kwe kubeera ekitonde ekiggya.
16
Eddembe n'okusaasirwa bibeere ku abo abagoberera etteeka lino, era ne ku Yisirayeli wa Katonda.
17
N'okuva kati wabulewo antawaanya, kubanga enkovu za Yezu mpita nazo ku mubiri gwange.
18
Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeerenga n'omwoyo gwammwe, abooluganda. Amiina.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6