bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 2
Galatians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Oluvannyuma lw'emyaka kkumi n'ena, naddamu okwambuka e Yeruzaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito.
2
Nagendayo olw'okubikkulirwa kwe nali nfunye; ne mbanjulira Evangili gye nali mbuulira mu b'amawanga; twali ffekka n'abo abaali bafaanana okusingamu ekitiibwa; ekyaginnyanjuza, nti sikulwa nga nzirukira busa, oba nga mbadde nzirukira busa.
3
Kale ne Tito yennyini bwe twali, nandibadde yali Mugereeki, tebaamuwaliriza kutayirirwa.
4
Olw'okubeera abooluganda ab'obulimba, abaaleetebwa mu nkukutu ne batwerimbikamu okuketta balabe eddembe lye tulina mu Kristu Yezu, nga baagala okutuzza mu buddu,
5
naffe tetwabagonderako n'akatono, nga twagala amazima g'Evangili gabakuumirwe.
6
Abo abaali bafaanana okusinga ekitiibwa – sifaayo oba baani, anti Katonda teyeeguya muntu – kale nno abo abaali bafaanana okusinga ekitiibwa tebalina kye bannyongerako.
7
Naye wabula, bo bwe baalaba nga nange nakwasibwa Evangili okugiyigiriza abatali batayirire, nga ne Petero bwe yali akwasiddwa Evangili olw'abatayirire,
8
– ndaba eyakolera mu Petero mu butume bwe eri abatayirire ye yakolera ne mu nze nga ntumiddwa eri ab'amawanga, -
9
bwe baategeera eneema gye nali mpeereddwa, Yakobo ne Kefa ne Yowanna, abaali balabika okuba empagi, ne bakwata nze ne Barunaba mu ngalo n'emikono gyabwe egya ddyo okulaga nti tuli kimu, ffe tugende mu b'amawanga, bo mu batayirire.
10
Wabula baatusaba okujjukiranga abaavu, ekintu nange kye nali njagala okukola.
11
Naye Kefa bwe yatuuka mu Antiyokiya, ne mmukaliramu kubanga gwali gumusinga.
12
Abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebanajja, yali alyanga n'ab'amawanga; naye bwe bajja, ne yeeseebulula, ne yeeyawulako olw'okutya abava mu batayirire.
13
N'abayudaaya abalala ne bamulabirako okukuusa, ne Barunaba yennyini ne bamutwaliriza mu kukuusa.
14
Bwe nalaba nga si balambulukufu mu bikwata ku mazima g'Evangili, kwe kwatulira Kefa mu maaso ga bonna nti: “Oba ggwe Omuyudaaya oyisa ng'ab'amawanga n'otoyisa Kiyudaaya, osobola otya okuwaliriza ab'amawanga okuyisa ng'Abayudaaya?”
15
Ffe mu buzaale Abayudaaya, abatali b'amawanga aboonoonyi,
16
tumanyi ng'omuntu tafuuka mutuukirivu lwa kutuukiriza bikolwa bya mu Tteeka, wabula lwa kukkiriza Yezu Kristu, naffe twakkiriza Kristu Yezu, tufuuke tutyo abatuukirivu olw'okukkiriza Kristu, sso si lwa bikolwa Etteeka bye liragira; anti nga mpaawo n'omu afuuka mutuukirivu olw'okukola obukozi Etteeka bye liragira.
17
Oba bwe tunoonya okufuuka abatuukirivu mu Kristu twesanga nga tukyali boonoonyi, awo nno Kristu muleesi wa kibi? N'akatono!
18
Oba nzimba buggya bye nazimbulula, mba nkakasa nti nali musobya.
19
Naye nze nga mpita mu Tteeka, Etteeka nalifuukira mufu, ndyoke mbeere omulamu ku bwa Katonda.
20
Nakomererwa ku musaalaba awamu ne Kristu; ndi mulamu naye nga si ku lwange, wabula ku lwa Kristu asula mu nze; ndi mulamu kaakano, naye nga lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala, ne yeewaayo okubeera nze.
21
Sigaya neema ya Katonda, kubanga singa obutuukirivu bwali buva mu Tteeka, Kristu yandibadde yafiira bwereere.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6