bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Galatians 4
Galatians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Kye ŋŋamba kye kino, nti omusika bw'aba akyali muto, yadde nga byonna ye nnyinibyo, aba talina ky'asinza muddu.
2
Abakuza n'abalabirira ebintu bye be bamufuga okutuusa ebbanga kitaawe lye yamuteeseza.
3
Naffe bwe tuli. Bwe twali tukyali bato, twali baddu b'amaanyi g'ebintu ensi mwe yakolebwa.
4
Naye obudde bwe bwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we, n'azaalibwa omukazi, nga naye atwalibwa Tteeka,
5
alyoke anunule abo Etteeka be lyafuganga, tulyoke twebonanyizibwe ng'abaana.
6
Kubanga nno muli baana, Katonda kyeyava asindika Mwoyo w'Omwana we mu mitima gyaffe, akoowoola nti: “Abba, Taata.”
7
Awo nno tokyali muddu, wabula mwana mu Katonda; ate kubanga oli mwana, oli na musika.
8
Weewaawo luli Katonda nga temunnamumanya, mwaweerezanga buddu ebyo mu butonde ebitali Katonda n'akatono.
9
Kale nno, mumaze okumanya Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga mumaze okumanyibwa Katonda, muyinza mutya okudda ku bintu ebyo ebinafu omutali kantu, bye mwagala okuttukiza mubeere baddu baabyo?
10
Mukuza ennaku n'emyezi, obudde bw'omwaka n'emyaka.
11
Mbatiiriridde, nti sikulwa nga nafaabiinira bwereere ku lwammwe.
12
Abooluganda, mubeere nga nze, kubanga nange nafuuka nga mmwe; temunkolanga kibi.
13
Luli obukosefu mu mubiri bwe bwandeetera okusookera ku mmwe okubatuusaako Evangili.
14
Newandibadde embeera gye nalimu yabasobeza, kyokka temwannyooma wadde okunneekanasa; naye mwannyaniriza nga malayika wa Katonda, nga Kristu Yezu yennyini.
15
Okunsanyukira okwo kwonna kuzze wa? Sibalimbamu, olwo singa kyali kisoboka, n'amaaso gammwe mwandigatunguddemu ne mugampa.
16
Kati okubabuulira amazima kye kinfudde omulabe wammwe?
17
Bagezaako okubettanira, naye si lwa bulungi; baagala kubaawukanya ku ffe, mulyoke mwettanire bo.
18
Okwettanira olw'ensonga ennungi kintu kirungi, ne bwe mba nga siri eyo nammwe.
19
Baana bange, nzizeemu nnumwe, mbazaale buggya okutuusa Kristu ng'atondeddwa mu mmwe?
20
Nandyagadde mbeere eyo nammwe kati nkyuse mu njogera gye njogeramu, kubanga kati mbabuusabusaamu.
21
Mumbuulire, mmwe abaagala ate okufugibwa Etteeka: Etteeka temuliwuliranga?
22
Kubanga kyawandiikibwa nti: “Yiburayimu yalina abaana babiri: omu yamuzaala mu mukazi muzaana, omulala mu wa ddembe.
23
Naye gwe yazaala mu muzaana, yazaalibwa mu butonde, sso gwe yazaala mu w'eddembe, yazaalibwa ng'ayita mu kisuubizo.
24
Ekyo nno kifaayo kya makulu: Abakazi abo ababiri ze ndagaano ebbiri: emu esibuka ku lusozi Sinayi, y'ezaala abaana b'obuddu; ye Agari.
25
Kati nno Agari lwe lusozi Sinayi mu Arabiya; luli nga Yeruzaalemu ow'omu budde buno kubanga ali mu buddu n'abaana be.
26
Naye Yeruzaalemu ali waggulu ye wa ddembe, ye nnyaffe.
27
Anti kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaalangako; yamira, leekaana, ggwe atazaalangako; kubanga abaana b'oyo eyayabulirwa bangi okusinga ab'oyo aliko bba.”
28
Kati ffe, abooluganda, ffe baana ab'ekisuubizo nga Yizaake bwe yali.
29
Nga luli, oli eyazaalibwa mu butonde kyokka bwe yayigganya eyazaalibwa mu Mwoyo, na kaakano bwe guli.
30
Kazzi ebiwandiiko bigamba bitya? “Goba omuzaana ne mutabani we; kubanga omwana w'omuzaana taliba musika wamu na mwana wa ddembe.”
31
Awo nno, abooluganda, tetuli baana ba mukazi muzaana, naye b'oli ow'eddembe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6