bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 1
Ecclesiastes 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
1
Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2
Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu.
3
Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?
4
Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala ne gijja; naye ensi ebeerera awo ennaku zonna.
5
Enjuba evaayo, era n'egwa, ate n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva.
6
Empewo ekunta ng'edda e bukiikaddyo, ate n'ekyukira e bukiikakkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo.
7
Emigga gyonna giyiwa mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigiyiwa era eyo gye gyongera okuyiwa.
8
Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu bwatayinza kwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
9
Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.
10
Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti, “ Laba! Kino kiggya?” Kyamala dda okubaawo mu mirembe egyatusooka.
11
Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12
Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi.
13
Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu; bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'abantu okubaluma.
14
Nnalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15
Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa, n'ekyo ekitatuuka tekibalika.
16
Nnateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti, “Laba, nneefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi; weewaawo, omutima gwange gwafuna nnyo amagezi n'okumanya.”
17
Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru; nnalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
18
Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi; n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12