bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 7
Ecclesiastes 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
1
Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.
2
Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga; kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; era n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
3
Ennaku zisinga enseko; kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busanyusa omutima.
4
Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.
5
Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.
6
Kubanga amaggwa nga bwegatulikira wansi w'entamu, n'enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo; era n'ezo butaliimu.
7
Mazima okunyigiriza kufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.
8
Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo; alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.
9
Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala, kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.
10
Toyogeranga nti, “Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zino?” Kubanga ekyo si kibuuzo kya magezi.
11
Amagezi genkana obulungi obusika, weewaawo, gabagasa bonna abalaba enjuba.
12
Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo, naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13
Lowooza omulimu gwa Katonda; kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?
14
Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ne ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; Katonda yaliraanya olwo na luli, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiribaawo oluvannyuma lwe.
15
Ebyo byonna nnabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange; waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi n'awangaalira mu kukola kwe obubi.
16
Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi; lwaki ggwe okwezikiriza wekka?
17
Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru, lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?
18
Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo; kubanga atya Katonda anaavanga mu ebyo byonna.
19
Amagezi gawa amaanyi omugezigezi okusinga abafuzi kkumi (10) abali mu kibuga.
20
Mazima tewali mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n'atayonoona.
21
Era tossaayo mwoyo ku bigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira;
22
kubanga emirundi mingi omutima gwo; gumanyi nga naawe bw'otyo bw'okolimira abalala.
23
Ebyo byonna nnabigezesa n'amagezi gange; era nnayogera nti, “Ndiba mugezigezi;” naye amagezi ne gambeera wala.
24
Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebera?
25
N'akyuka, omutima gwange ne ngumalira ku kumanyanga, n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo, era n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, ate ng'obusirusiru ddalu.
26
Era ne ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi; omutima gwe byambika n'ebitimba, n'emikono gye giri ng'enjegere; wabula buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.
27
Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga,
28
emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba. Omusajja omu mu lukumi (1,000) gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna ssaalabayo n'omu.
29
Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12