bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 6
Ecclesiastes 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
1
Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu;
2
omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi.
3
Omuntu bw'azaala abaana kikumi (100), n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo.
4
Kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza;
5
wabula newakubadde aba talabye njuba era nga tagitegedde; ono ye aba n'okuwummula okusinga oli.
6
Weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi (1,000) emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi, bonna tebadda mu kifo kimu?
7
Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kw'akamwa ke, wabula okwegomba kwe tekukkuta.
8
Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? Oba omwavu amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu alina ki?
9
Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba; era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
10
Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu, so omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi.
11
Kubanga waliwo ebintu bingi ebyogera ku butaliimu, kale omuntu yeeyongera atya okugasa?
12
Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabangawo oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12