bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 10
Ecclesiastes 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa; bwe kityo n'obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2
Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3
Era, weewaawo, omusirusiru ne bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwako, n'agamba buli muntu nga bwali omusirusiru.
4
Omukulu akufuga bw'akusunguwaliranga, tovanga mu kifo kyo; kubanga okumenyeka kukkakkanya okunyiiga okungi.
5
Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, kwe kusobya okuva eri omukulu;
6
obusirusiru nga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi.
7
Nnalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8
Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimubojja.
9
Buli asimula amayinja galimusala; n'oyo ayasa enku zirimuleetera akabi.
10
Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera amaanyi ng'okikozesa; naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula.
11
Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa.
12
Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimumira ye yennyini.
13
Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru, n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14
Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo, naye omuntu tamanyi ebiribaawo; era ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okubimubuulira?
15
Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16
Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, ate abakulu bo ne balya enkya!
17
Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18
Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19
Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye effeeza eyanukulira byonna.
20
Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula, kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12