bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 8
Ecclesiastes 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
1
Ani ali ng'omuntu omugezigezi? Era ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.
2
Nkukuutira ebigambo bino, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda.
3
Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi; kubanga akola buli ky'ayagala.
4
Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti, “Okola ki?”
5
Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'omuntu omugezigezi gumanya ekiseera n'okuteesa.
6
Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo.
7
Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
8
Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa, so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.
9
Ebyo byonna nnabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba, wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.
10
Era nate nnalaba ababi nga babaziika mu ntaana; so nga bagendanga emirundi mingi era bava mu kifo ekitukuvu, baatenderezebwanga mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga obubi; baziikibwa mu kitiibwa naye ne beerabirwa mu kibuga, era n'ekyo butaliimu.
11
Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi.
12
Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge;
13
naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso Katonda.
14
Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu.
15
Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
16
Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi, nnazuula nti waliwo abantu abaatafuna tulo mu maaso gabwe emisana n'ekiro.
17
Awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba. Kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12