bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ecclesiastes 9
Ecclesiastes 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
1
Kubanga ebyo byonna n'abiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda; oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi, byonna ebiri mu maaso gaabwe butaliimu.
2
Olw'okubanga byonna byenkana ebijjira bonna, waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri atali mulungi, eri omulongoofu n'atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka. Nga omulungi bw'ali, n'alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.
3
Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna; weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu bonna gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.
4
Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu, oyo aba n'essuubi, kubanga era n'embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.
5
Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, era tebakyalinayo mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.
6
Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'obuggya bwabwe byonna bizikiridde, so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
7
Genda, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo.
8
Ebyambalo byo bitukulenga ennaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta.
9
Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu; kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.
10
Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.
11
Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba nga ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.
12
Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye. Nga ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.
13
Era nnalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo, ne gafaanana nga mangi gye ndi.
14
Waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo nga si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako enkomera ennene.
15
Awo ne walabika mu kibuga omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.
16
Kale ne njogera nti, Amagezi gasinga amaanyi obulungi, era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.
17
Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru.
18
Amagezi gasinga eby'okulwanyisa, naye alina ebibi omu azikiriza ebirungi bingi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12