bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 1
Galatians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Pawulo omutume, ataabufuna kuva mu bantu wadde okuyita mu muntu, wabula okuva eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu,
2
n'ab'oluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez'e Ggalatiya.
3
Ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,
4
eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi ng'okwagala kwa Katonda era Kitaffe bwe kuli,
5
aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
6
Nneewuunya kubanga muvudde mangu ku oyo, eyabayita mu kisa kya Kristo okugoberera enjiri endala,
7
si kuba nti waliwo enjiri endala, wabula mwatawanyizibwa abantu abamu, abaagala okukyusiza ddala Enjiri ya Kristo.
8
Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
9
Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo ne kaakano nkiddamu nti, Omuntu bw'ababuuliranga enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza, akolimirwenga.
10
Nkolerera kusiimibwa bantu, nantiki Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nga nkyali mu kusanyusa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.
11
Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti Enjiri gye nnababuulira, si ya buntu,
12
kubanga nange ssaagiweebwa muntu wadde okuyigirizibwa omuntu, wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira.
13
Kubanga mwawulira nga bwe nnali edda mu ddiini y'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda nga ngezaako okugizikiriza.
14
ne mpitirizanga mu ddiini y'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.
15
Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye,
16
n'ambikkulira Omwana we, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; sseebuuza ku muntu n'omu,
17
so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume, naye n'agenda mu Buwalabu, oluvannyuma ne nkomawo mu Ddamasiko.
18
Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano (15).
19
Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20
Kale, bye mpandiika, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21
Awo bwe n'avaayo ne ŋŋenda mu bitundu bye Busuuli ne Kirukiya.
22
Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinantegeera,
23
naye ne bawuliranga buwulizi nti, “Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza,”
24
ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6