bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 2
Galatians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Awo nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena (14) n'ayambuka nate e Yerusaalemi wamu ne Balunabba nga ntutte ne Tito.
2
Nnagendayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga. Nnayogera n'abo abaatenderezebwa, mu kyama bategeere Enjiri gye mbuulira mu b'amawanga, si kulwa nga bwe nkola mba nga akolera obwereere.
3
Naye newakubadde Tito, gwe nnali naye, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa.
4
Naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu.
5
Abo tetwabagonderako n'akatono, amazima g'Enjiri gasobole okubakuumirwa mmwe.
6
Naye abo abatwalibwa okuba ekintu eky'omuwendo, nga bwe bali, ku nze tewali njawulo, Katonda tasosola mu bantu, abo, ŋŋamba, abali baatenderezebwa tebalina kye bannyongerako;
7
naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa Enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey'abakomole
8
kubanga oyo eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole, ye yakolera ne mu nze olw'ab'amawanga;
9
era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa, nze ne Balunabba, omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu naffe, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole;
10
kyokka, baatusaba tujjukirenga abaavu; ekyo kye nnyini kye nesunga okukola.
11
Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala.
12
Kubanga abantu abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole.
13
Era n'Abayudaaya abalala bonna abaali naye, ne bamwegattako mu bukuusa, ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe.
14
Naye bwe nnalaba nga teberambise butereevu mu mazima g'Enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Oba nga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?”
15
Ffe, Abayudaaya mu buzaaliranwa, tetuli b'amawanga aboonoonyi,
16
kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.
17
Naye oba nga, mu kufuba kwaffe okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, ffe ffennyini twasangibwa okuba aboonoonyi, kale Kristo muweereza wa kibi? Nedda, n'akatono!
18
Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi.
19
Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda.
20
Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.
21
Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6