bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 5
Galatians 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2
Kaakano, nze Pawulo, kambategeeze nti, bwe munaakomolebwa, nga Kristo taliiko ky'abagasa.
3
Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna.
4
Mwawuliddwa ku Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa.
5
Kubanga nga tuyita mu Mwoyo, olw'okukkiriza, tulindirira essuubi ery'obutuukirivu.
6
Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa newakubadde obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.
7
Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima?
8
Okusendebwasendebwa okwo tekwava eri oyo abayita.
9
Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.
10
Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.
11
Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? Kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.
12
Nnandyagadde abo abababuguutanya beeraawe!
13
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye temukozesa ddembe lyammwe, kukola omubiri bye gwagala, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.
14
Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
15
Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.
16
Naye njogera nti mutambulirenga mu Mwoyo, era temuutuukirizanga kwegomba kwa mubiri.
17
Kubanga okwegomba kw'omubiri kulwanagana n'Omwoyo, n'Omwoyo gulwanagana n'omubiri; kubanga ebyo byombiriri bikontana, mulemenga okukola ebyo bye mwagala.
18
Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.
19
Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, obugwenyufu, obukaba,
20
okusinza ebitali Katonda, obulaguzi, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu,
21
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: mbalabula nga bwenasooka okubalabula nti abo abakola ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
22
Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,
23
obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.
24
N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'omululu gwagwo n'okwegomba kwagwo.
25
Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo.
26
Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tetukwatibwa buggya fekka na fekka.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6